
Ekisenge kyo nakirabye naye tekyandabikidde bulungi. Kubanga engoye nazirabye nga buli w‛okuba eriiso olaba ngoye.
Ekinaabiro kyansobedde nga kirabika tokiyonja. Mwana wange obuyonjo tebulina kubeera mu ddiiro, mu kiyungu ate ekisenge kyammwe n‛okyerabira.
Omukyala yenna alina okubeera omuyonjo mu nnyumba yonna. Oba tokimanyi omusajja oluusi ayinza obutafuna bwagazi olw‛obucaafu bw‛ekisenge.
Ekisenge nakyo kifeeko,tolina kubeera muyonjo lwa bagenyi bokka, olina okubeera omuyonjo kubanga naawe oyagala okubeera omuyonjo.
Naye kati ndaba ng‛ofaayo nnyo okubeera omuyonjo mu bifo by‛omanyi nti abagenyi batuukawo.
Kati mwana wange omusulo okuwunya mu kinaabiro kyammwe oba mu kisenge kyammwe ate nga temulina mwana muto asula mu kisenge kyammwe nze ndaba nga kigenze wala.
Ekiyigo kyammwe mukifuuyisaamu ate nga mulina toyireeti enzungu mu kisenge? Omanyi abantu bangi balina omuze ogwokufuuyisa nga banaaba, ne batamanya nti omuze guno guleetera ekinaabiro okuwunya.
Ate ky‛olina okukola kwe kulaba ng‛ekiyigo okyoza buli lunaku olwo omusulo tegusobola kuwunya. N‛ekirala nasobeddwa engoye nga ziri buli wamu.
Olina okufuna ekisero ky‛engoye eziddugala ate n‛ekirala nga kya ngoye ennyonjo. Ate bw‛omala okugolola engoye nazo zifunire w‛oziteeka.
Naye ekisenge mu butuufu kyabadde kirabika bubi ddala ate nga kiwunya. Olina okubeera omuyonjo mu mbeera yonna.