TOP

Ekisenge tokisuulirira mu buyonjo

Added 27th February 2019

Nabaddeko ewuwo naye lwaki engoye ozimansamansa buli wamu, naddala mu kisenge? Obuyonjo tebulina kukoma mu ddiiro.

Mwana wange weebale emirimu era nasanyuka bwe namanya nti kati obufumbo obukutte bulungi. Naye ate waliyo akabulamu nga nako njagala okakole obufumbo butereere. Ekisenge kyo nakirabye naye tekyandabikidde bulungi. Kubanga engoye nazirabye nga buli w'okuba eriiso olaba ngoye. Ekinaabiro kyansobedde nga kirabika tokiyonja.

Mwana wange obuyonjo tebulina kubeera mu ddiiro, mu kiyungu ate ekisenge kyammwe n'okyerabira. Omukyala yenna alina okubeera omuyonjo mu nnyumba yonna. Oba tokimanyi omusajja oluusi ayinza obutafuna bwagazi olw'obucaafu bw'ekisenge.

Ekisenge nakyo kifeeko,tolina kubeera muyonjo lwa bagenyi bokka, olina okubeera omuyonjo kubanga naawe oyagala okubeera omuyonjo. Naye kati ndaba ng'ofaayo nnyo okubeera omuyonjo mu bifo by'omanyi nti abagenyi batuukawo. Kati mwana wange omusulo okuwunya mu kinaabiro kyammwe oba mu kisenge kyammwe ate nga temulina mwana muto asula mu kisenge kyammwe nze ndaba nga kigenze wala.

Ekiyigo kyammwe mukifuuyisaamu ate nga mulina toyireeti enzungu  mu kisenge? Omanyi abantu bangi balina omuze ogwokufuuyisa nga banaaba, ne batamanya nti omuze guno guleetera ekinaabiro okuwunya. Ate ky'olina okukola kwe kulaba ng'ekiyigo okyoza buli lunaku olwo omusulo tegusobola kuwunya.

N'ekirala nasobeddwa engoye nga ziri buli wamu. Olina okufuna ekisero ky'engoye eziddugala ate n'ekirala nga kya ngoye ennyonjo. Ate bw'omala okugolola engoye nazo zifunire w'oziteeka. Naye ekisenge mu butuufu kyabadde kirabika bubi ddala ate nga kiwunya. Olina okubeera omuyonjo mu mbeera yonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....