TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebibala bya Valentayini tubirinze mu November

Ebibala bya Valentayini tubirinze mu November

Added 27th February 2019

Abaafunye embuto ku Valentayini baakuzaala mu November. Anti obumuli we bwawotokedde nga batandise okwota akasana ak’akawungeezi, okubuuza embuga n’okuyoya obuyembe obuto.

Abaafunye embuto ku Valentayini baakuzaala mu November. Anti obumuli we bwawotokedde nga batandise okwota akasana ak'akawungeezi, okubuuza embuga n'okuyoya obuyembe obuto.

Olw'okuba waabaddewo okwekutyeera kungi mu bya laavu, abasawo nabo beetegese. Muno mulimu okwongeza okutereeza mu mpeereeza yaabwe mu nnaku ez'okunywa eddagala naddala okuva awo mu August embuto we zinaaba ziwereza emyezi omukaaga.

Wano nno we kisaanidde abasajja abaakombye ebbakuli za bannaabwe ku Valentayini okwetegeka. Kubanga oluusi bannammwe mubeepena; so ng'ate bwe muba mubawa obumuli ku lunaku luno mukansa bakanse.

Oluusi nga mwerabidde nti kiwooma magaaya. Era n'abatunda emmumbwa wano we bafunira mu Valentayini. Kubanga abajja okubanoonya okuzibagulako nabo bangi; ng'abo abaaganzizza omusajja asukka mu omu ku lunaku luno nga banoonya okwegema amakkato.

Noolwekyo abaasanyuse ku Valentayini mumanye nti waliwo ebiyinza okuddako. Naye nga biba birungi kubanga kati ssaayansi yayamba n'aleeta enkola z'okwegema okuzaala era ne zikendeeza ne ku ndwadde ng'enziku.

Ssinga enziku ekyali nnyingi, be yandibadde ekutte mwandibarabye ng'amaaso gabanyuse, anti mu nnaku ssatu eba yeeraze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...