
SSENGA nina ekizibu, omwami wange yafuna omukyala omulala kyokka tubadde tutegeka kukyala waffe. Nina abaana batano era yanzimbira ennyumba. Kati ebyokukyala mbiveeko. Ate mu ddiini yange omusajja alina kubeera na mukyala omu, nkoze ntya? Yambuulira nti omukyala amulina era ennaku zino asuulayo.
Okusookeera ddala nkimanyi kiruma nnyo ate okuwulira ng'omwami yafuna omukyala owookubiri ate nga mutegeka kukyala. Wabula nze ndaba nga mwalwawo okukyala kubanga oluusi abasajja abamu bw'alaba nga teri kimugaana kufuna mukyala mulala akikola. Kati ggwe mu butuffu olinga muganziwe kubanga tomanyiddwa.
Ate ekirala, wadde ogamba nti eddini tekkiriza naye abasajja bawera abalina abakyala abasukka mw'omu naye ng'eddiini tekkiriza. Kale leka kulowowoza nti tasobola kufuna mulala kubanga ate gwe tomanyiddwa mu ddiini era kimanyiddwa nti si musajja mufumbo. Oba ddala akwagala agenda kugenda mu maaso okukyala ewammwe. Era kino kye kiseera okwogera ku nsonga eno olabe ky'agamba.
Togaana bya kukyala kubanga mwembi temuli bakyala be. Okuggyako nti gwe nga bw'aludde naawe obeera mukyala mu mateeka naye ate eddiini tekumanyi.