
NDI musajja mukulu era ne mukyala wange tumaze emyaka kumpi 45 nga tuli bafumbo. Naye kati mukyala wange ayagala kunoba era ng'okusinga abaana be baagala anobe.
Tannambuulira naye mbiwulira era ne paasipoota yafuna. Nina muwala wange ali Bulaaya kati baagala kumutwala alabirire abazzukulu. Naye muwala wange omu yahhamba nti maama simukkiriza kugenda kubanga ayinza obutadda. Nkole ntya? omukyala yeeremye.
Abaana ennaku zino naddala nga bakuze basobola okulemesa amaka. Ate abakyala abamu abaana bwe bakula batandika okuwuliriza bamaama baabwe era basobola n'okusalawo okukola ekintu ng'okumunobya.
Omukyala ono mukulu era yeetaaga okubuulirirwa kwa bakyala banne abakulu nga bagumidde mu bufumbo.
Ekirala weewuunya ekimutwala ku myaka gy'alina okulera abazzukulu. Sigaanyi kiyambako muwala wammwe naye ate amaka aba agalendedde ani? Bw'aba agenda kukyalako tekirina mutawaana naye okubeerayo naddala ku myaka gino nze ndaba waliwo obuzibu.
Nsuubira olina abakyala abakulu abasobola okwogera n'omukyala ono. Era ekkanisa, oba omuzigiti nabyo bisoboola okuyamba ku nsonga eno kubanga abakuulu bamadiini bagala abafumbo kubeera waamu nadala nga mukadiiye.
Naaye era tekigaana kuwuliriza kyagamba kusonga enno. Naaye okutuuka okufuuna passipota nga takubulidde kyaliko agenda kuduuka buduusi.
Olina omutandikako nga tanaba kubuuka, ate bwalisawo okikola era olina okutandika okulowooza kungeri gyogenda okubeerawo nga tolina mukyala. Ani anakulabirira kubanga kyemanyi okuze. Abaana banaakuteerako omukzi?