TOP

Okuloota ng'olya ebiwuka kiwa essuubi

Added 5th March 2019

Betty ow’e Salaama yaloota ng’alya ebiwuka. Kitegeeza nga bw’onootera okukola ekintu ky’omaze ekiseera ng’otidde okukikola.

Harriet ow'e Kikindu yaloota nga muganzi we ali mu nnaku nnyingi nga takyalina na ssente. Waloota bulungi kubanga muganzi wo ajja kwongera kubeera bulungi, afune ne ssente ezisinga ne z'alina kati. 

Nabirye ow'e Kaliro yaloota omukazi eyali agabula omuceere n'ennyama ng'agenda abayiira mu ngalo. Omuceere yagulya, ennyama n'agigaana. Kikulabula okufuga obusungu bwo, kubanga waliwo abeetegese okukulemesa by'oyagala okukola. 

Josephine ow'e Kyamuswa yaloota ng'ali mu mazzi omwali emisoto. Kitegeeza ng'emu ku ntegeka z'olina mu birowoozo byo, gy'olowooza nga yeeneekuyamba, nfu. Sooka owummuzeemu ku birowoozo byo. 

DJ. ow'e Masajja yaloota nga bali ku kitanda n'omukazi gwe yeegwanyiza. Oluvannyuma baava ku kitanda ne bagwa mu kinnya ne balemeramu okutuusa abadduukirize lwe baabasikayo. Kitegeeza nga bw'osaana okwesonyiwa omukazi oyo kuba wabisiraani by'otoggya kusobola. 

 

Ismail ow'e Mbarara yaloota nga waliwo abantu abamugoba naye ye ng'adduka bwabuuka. Ekirooto kino kitegeeza ebizibu ebiri mu maka go oba mu kika kyo ebyetaaga okutereeza naye nga mukyabinyomerera. 

Naava ow'e Namasuba yaloota nga laddu egudde n'esigula omuti ne gugwa mu maaso gye yali alaga. Ekirooto kino kitegeeza olugendo olulimu ebizibu lw'onootera okutambula. Singa kisoboka, sooka oyimirize mu ntambula zo. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...