Bak'abasajja bayize nnyo ennyenda y'okusindira omukwano ku ssimu.
Era abasajja ab'ebbuba erisusse mwesibe bbiri. Kuba kati omusajja ayinza okukola ne mukyala wo akaboozi ku ssimu omukazi n'amalamu n'akagoba! Byonna nga babikolera mu buliri bwo ggwe ng'okyali mu mipiira munyumya ne banno! Ogenda okudda awaka omukwateko nga ye mukkufu wa jjo. Era ng'akugamba nti tomukwatako.
Kati ggwe abadde alina enkola ey'okusibira mukyala wo awaka ng'olowooza nti lw'ataayende munnange gakulimbye. Kati eyo y'enkola empya amasimu gye gatuttemu laavu.
Kubanga okutuuka ku ntikko kiva mu bwongo we bussa oyo gw'oyagala ne by'akugamba oba by'akukola.
Ate laavu y'ewala ky'ebeeredde, ebeera eyokya nnyo abo abagirimu. Kale olw'okuba nti omukazi aba akugirwa okulaba omusajja ono gw'aba aganzizza ebbali, buli lw'amukubira ku ssimu n'awulira ku ddoboozi lye ng'empale etoba kuba obwagazi buba waggulu. Ekiddako kuba kumalamu kagoba! Kati ggwe ogenda okudda awaka ng'ova eyo mu mipiira gye muva, omukazi omusanga yeebisse nga yamaze ddala takyalina ky'akwetaagako. Era bw'omukwatako akugamba nga bwali omulwadde. Kozzi yakkutidde ku ssimu!
Abakugu mu laavu bo kino tebakyewuunya. Kubanga bagamba nti omukazi okulowooza obulowooza ku gw'ayagala era ayinza okumalamu akagoba. Oba ne bw'aba asomye ebbaluwa gye yamuwandiikidde oba zino whatsApp ezajja.
Noolwekyo omusajja abubira omukazi kyava kati asaanidde okulowooza ennyo okusinga ku w'abadde akolera.