TOP

Ebyenfuna bitutabudde

Added 11th March 2019

EKIZIBU kye tulina mu maka gaffe byanfuna. Mukyala wange ayagala ettaka lye ngula nditeeke mu mannya ge ate nga nze ndowooza nti lirina kubeera mu mannya gaffe ffembi oba mu mannya g’abaana baffe kubanga tukolerera baana. Ssenga ani mutuufu?

OLI mutuufu mwana wange okuteeka ettaka mu mannya gammwe mwembi. Kubanga bw'oteeka mu mannya g'omukyala yekka kitegeeza nti ettaka lirye era kitegeeza nti waddembe okutunda oba okugaba ettaka eryo mu bantu be.

N'ekirala ye ng'omukyala lwaki ayagala libeere mu mannya ge ng'ate ebintu mubikola mwami na mukyala?

Ate era ebintu bibeera bya baana bammwe. Kati omukyala bw'akugamba nti obiteeke mu mannya ge, kitegeeza nti ayagala abeere nnannyini bintu era nga y'abirinako obuvunaanyizibwa.

Olina okwegendereza embeera eno kubanga omukyala ono tomanyi, ayinza okuba n'ekigendererwa ekirala. Abakyala bano oluusi beekyusa era ogenda okulaba ng'osigadde mu bbanga.

Omukyala ono alabika ayagala kuwamba bintu byammwe byonna era olina okulaba ng'ebiwandiiko eby'omugaso obitereka wala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...