TOP
  • Home
  • Buuza Ssenga
  • Eddagala lya 'herbal' linannyamba okumponya kookolo wa nnabaana?

Eddagala lya 'herbal' linannyamba okumponya kookolo wa nnabaana?

Added 12th March 2019

NDUDDE nga Nnumizibwa mu ndira era nga nkozesa eddagala ly’ekinnansi (herbal) naye sifuna njawulo. Kati nagenze mu ddwaaliro ne baηηamba nti nina kookolo wa nnabaana. Senga nkoze ntya, ‘herbal’ ayinza okunnyamba oba nsigale mu ddwaaliro ezzungu?

Munnange ng'olabye! Ennaku zino endwadde nnyingi zikona oba zikula naye ng'abantu tebafunye bujjanjabi butuufu.

Kati omuntu agenda okumanya ekituufu ng'obulwadde bukuze nnyo. Kookolo wa nnabaana ssinga azuuliddwa nga yaakatandika bakujjanjaba n'owona. Ate ekibi nti oyinza okuba nga bakujjanjaba nga tolabawo njawulo naye ate n'oyongera kugenda ew'omusawo oyo atakuwonya.

Ate basawo bano ebiseera ebisinga babaggyako ssente nnyingi okusinga kw'ezo z'owaayo ng'ogenze ew'omusawo omutuufu.

N'ekirala, abasawo bakubiriza abakyala okwekebezanga kookolo wa nnabaana oba ow'omumwa gwa nnabaana. Era nga bwekiri mu basajja nti balina okukebera ‘prostrate cancer'. Kati mwana wange amagezi ge nkuwa gumira w'oli kati mu ddwaaliro ezzungu.

Kimanyiddwa nti wano mu Uganda teri ddagala lisobola kuggyawo oba okuwonya kookolo.

Olina okugenda mu ddwaaliro ezzungu ne bakuyamba ate bw'abeera tannakula nnyo osobola okuwona nga bakuteese ku ddagala.

Newankubadde abantu baagala nnyo ‘herbal' naye alina by'atasobola kukola. Ate era mu ‘herbal' mulimu abafere. Mu ddwaaliro eddene bakubuulira ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....