TOP

Omukazi ayagala kunoba

Added 13th March 2019

NDI musajja mukulu era ne mukyala wange tumaze emyaka kumpi 45 nga tuli bafumbo. Naye kati mukyala wange ayagala kunoba.

NDI musajja mukulu era ne mukyala wange tumaze emyaka kumpi 45 nga tuli bafumbo. Naye kati mukyala wange ayagala kunoba era ng'okusinga abaana be baagala anobe. Tannambuulira naye mbiwulira era ne paasipoota yafuna. Nnina muwala wange ali Bulaaya kati baagala kumutwala alabirire abazzukulu. Naye muwala wange omu yangamba nti maama simukkiriza kugenda kubanga ayinza obutadda. Nkole ntya? omukyala yeeremye.

Abaana ennaku zino naddala nga bakuze basobola okulemesa amaka. Ate abakyala abamu abaana bwe bakula batandika okuwuliriza bamaama baabwe era basobola n'okusalawo okukola ekintu ng'okumunobya.

Omukyala ono mukulu era yeetaaga okubuulirirwa kwa bakyala banne abakulu nga bagumidde mu bufumbo. Ekirala weewuunya ekimutwala ku myaka gy'alina okulera abazzukulu. Sigaanyi kiyambako muwala wammwe naye ate amaka aba agalekedde ani? Bw'aba agenda kukyalako tekirina mutawaana naye okubeerayo naddala ku myaka gino nze ndaba waliwo obuzibu.

Nsuubira olina abakyala abakulu abasobola okwogera n'omukyala ono. Era ekkanisa, oba omuzigiti nabyo bisobola okuyamba ku nsonga eno kubanga abakulu b'eddiini  baagala abafumbo kubeera wamu naddala nga mukaddiye. Naye era tekigaana kuwuliriza ky'agamba ku nsonga eno.

Naye okutuuka okufuna paasipoota nga takubuulidde kyaliko agenda kudduka buddusi. Olina okutandikirawo nga tannabuuka, ate bw'alisawo okikola era olina okutandika okulowooza ku ngeri gy'ogenda okubeerawo nga tolina mukyala. Ani anaakulabirira kubanga kyemmanyi okuze. Abaana banaakuteerako omukozi?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....