TOP

Yiga okukuba kkoodi

Added 13th March 2019

Bw’oba ogenda okukyala ew'omuwala gw’okwana, osookanga kulaga. Era bw’oba odda wuwo, munno sooka omutegeezeeko, yeetegeke. Ate mu nsonga z’e Namboole oteekeddwea okukonkona mu ngeri eri entuufu, ebintu bitambule bulungi…

Abaagalana mu mukwano

Abaagalana mu mukwano

Bw'oba ogenda okukyala ew'omuwala gw'okwana, osookanga kulaga. Kubanga oyinza okusangayo by'otoosobole ne bikusuuza "emboona" yo ate nga naye bambi yandikwagadde.

Oyinza okusangayo abalala abakwebera; nga bakyamukwana bukwanyi ggwe ne kikunyiiza n'omuleka. So ng'ate bambi abadde tabaagala wabula ng' owobusa bwali engabi nga n'atafumite akootakoota, nga nabo (abasajja) bano bali mu ttuluba eryo.

Naye ate era oluusi oyinza okusangayo basajja be b'ayagala. Nga ggwe oli mu kukwebera. Ne bakuba ggwe ne Mukeerere n'amwenya. N'oviiramu awo ng'ayokya omusota; kyokka ng'ojjudde binuubule. Ng'omukazi tomufunye ate nga bakubongodde n'amannyo; ekireetera abalala be wandifunye okutandika okukwebalama. Awo watya?!

Bye bisago nno abasajja abaganza bannakyeyombekedde bye basanga. Omukazi omukwanye ali mu nnyumba ye, tomanyi na bwe yagifuna, nga ggwe weetwala yo; oluusi okonkona amatumbibudde. Laba bw'akuba enduulu ekyalo ne kikuyiikira okukukuba nga bakuyita omubbi. Singa bakwambula ne bakuta n'ogenda (kubanga ababbi abamu babambula engoye) kati otuuka otya awaka? Ate ng'olwo baba bakusaasidde nnyo nga naawe weegayiridde baleme kukukuba ku ssekalootera!

Kale abalenzi abakyakwana n'abasajja abagaba ebbali, ensonga eno mugiyige. Okugenda ewa muganzi wo atali mu nnyumba yo lwe lummanyimmanyi olukwasa embwa ya muganzi wo mu mannyo. Munnange nno eyinza okukuluma.

N'abasajja abalina amaka nammwe bwe mutyo. Waliwo ebiseera lw'olina okutegeeza mukyala wo nti oli mu kkubo odda. Kikutaasa okusanga embeera ng'eteredde; nga kacaayi kayidde, awacafu nga weereddwa bulungi, ebitambaala mu ddiiro babitereezezza wamma ne kiyamba obutatikka mitaafu mu kyenyi ate ng'obadde ozze waka kuwummulamu.

Kuno kwe kukuba kkoodi. Ne bwe muba mu kitanda, era omusajja akuba kkoodi mu ngeri y'okukwata ku balongo ne kiwa munne okwetegeka. Ke kaboozi akanyuma.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ayo n'abavubuka be yakutte nga bafera abantu.

Abaguza abantu amazzi nga b...

ABAVUBUKA abaguza abantu amazzi nga bagayita butto mu bulippagano bw'ebidduka mu Kawempe n'ebitundu ebiriraanyewo...

Omu ku bayizi abaakoseddwa omukka ogubalagala ng’ali ku kitanda mu ddwaliro e Mukono.

Poliisi ekubye ttiyaggaasi ...

Waabaddewo akasattiro ku ssomero lya Mpoma Girls School erisangibwa e Mpoma mu ggombolola y'e Nama mu disitulikiti...

Neilah Asiimwe n'omuvubuka gwe yabadde naye mu vidiyo.

Omuyizi wa MUBS aleese 'Cha...

Mwana muwala Neliah Kansiime eyakamaliriza emisomo gye ku yunivasite ya MUBS e Nakawa wadde y'omu ku bakoseddwa...

Abamu ku bakola ogw’okubudaabuda abalwadde ba siriimu mu Kampala.

Ensonga 9 eziremezza siriim...

OKUGGYAKO ng'abantu bonna basituse ne bafungiza okumalirawo ddala obulwadde bwa siriimu, Gavumenti yokka tesobola...

Steven Ndibowa (ku kkono) omukugu okuva mu Baylor College of Medicine ng’aggya omusaayi ku Swaibu Sebyala ku lunaku lw’ensi yonna olwa siriimu mu 2018.

Omuwendo gw'abalina siriimu...

EBIKUNG'AANYIZIDDWA ebikwata ku kawuka akaleeta siriimu okwetooloola eggwanga wakati w'omwezi gwa April ne June...