TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ndabye ennaku okuva baze lwe baamusiba

Ndabye ennaku okuva baze lwe baamusiba

Added 13th March 2019

EBBANGA baze ly’amaze mu kkomera, mbonyeebonye n’ensi ne ntuuka n’okugyevuma. Nze Justine Namukoye 24 mbeera Kawempe Lugoba.

Twayagalana ne baze mu mu 2017 ku Kaleerwe nga nkola mu kalwaaliro akamu nga ndi musawo ate ye nga makanika mu galagi emu era ku Kaleerwe.

Yali omu ku balwadde bange be najjanjabanga Mu mbeera eyo, yannegomba n'atandika okunkwana n'antegeeza nga bwe yali tayagala nkome ku bulwadde bwa mubiri bwokka wabula mmujjanjabe ne mu by'omukwano.

Yatwala ekiseera ng'amperereza n'okundaga omukwano era okukkakkana nga nzikirizza era awo omukwano gwaffe we gwatandikira.

Yansaba nve mu kazigo mwe nnali nsula tutandike okubeera ffembi bwentyo nange ne nzikiriza era ne tutandika obufumbo bwaffe Nga wayise ebbanga, nafuna olubuto era ne mutegeeza bambi n'asanyuka.

Kino kyanneewuunyisa kuba nnali ndowooza nti naye alinga bano abayaaye b'oku Kaleerwe wabula omukwano gwaffe gweyongera bweyongezi n'okusinga bwe gubadde.

Twagenda mu maaso n'okutambuza obufumbo bwaffe nga bwe tukuza n'olubuto era nga tuli basanyufu newankubadde ssente tetwalina nnyingi naye nga tulina ezitubeezaawo.

Ekiseera kyatuuka baze n'afuna obuzibu bwe yatomeza emmotoka y'omu ku bakasitoma be baakanikira n'atomera omuntu n'afi irawo.

Yagenda ku poliisi okuwa sitatimenti wabula teyadda era ne bamusiba. Nategeera luvannyuma nti baamusiba n'okutuusa kati.

Nsaba famire ya baze ekkakkane kuba ssente ze batusaba nnyingi kyokka nga ne ze twakabawaako tebazibala ate ng'obukadde bwe basaba sibulina kuba sikola.

Ssinga mbadde nazo nandizibawadde ne bata omwami wange kuba mpita mu kaseera akazibu nga n'ennyumba landiroodi yatugoba nsula ku makubo.

Nasaba abazirakisa bannyambe nfune eky'okukola nsobole okulabirira omwana wange ne baze mpeeyo ssente ave mu kkomera. Ndi ku ssimu 0751910073.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu