TOP

Ebisika abalenzi okuganza abakazi ababasinga emyaka

Added 14th March 2019

Okukyalira ensiko kisika abavubuka okunyumya akaboozi n'abakazi abakadde. Era ggwe omukazi ali eyo ng’emyaka gitandise okukuwuubira akatambaala nga n’abakusiiya tekyali, nyweza kimu kya mpisa ya kukyala mu nsiko.

 Abaagalana mu laavu

Abaagalana mu laavu

Okukyalira ensiko kisika abavubuka okunyumya akaboozi n'abakazi abakadde

Eno y'emu ku ansa eri mu luyimba 'Ekinjagaza ekkadde..." .Wabula ng'esabikiddwa  okuyitibwa omugoyo. Kale ggwe omukazi ali eyo ng'emyaka gitandise okukuwuubira akatambaala nga n'abakusiiya tekyali, nyweza kimu kya mpisa ya kukyala mu nsiko olinde yenna alyetantala n'agwa mu katego ko, naawe ofune omukisa omulageko ky'olinawo. Noolwekyo abawala abazannyisa empisa eno ey'okukyalira ensiko ate nga musaba Mukama okubawa obuwangaazi mumanye akabaate ke mwolekedde.

Kubanga "kakulu asomba". Ako akabina akakutigisa nga kafuuse muserebende oba okufuuka ebbina. Amatama nga gagudde embugubugu n'ebiseera mu nsingo nga bifuuse enkanyanya. Leero nno ebbeere nga sitookisi ewedde emirimu. Kati awo nga n'abaakusiiyanga bonna nga bakulaba bbule,  ng'olwo ofuuse oguweddeko entonto ennyonyi gwe zeebalama.

Naye ekikutaasa ssinga wabaawo omusajja yenna agudde mu kamasu k'omukwano gwo, bye birungo by'oba nabyo ebiva mu kukyala ewa ssenga. Era abasawo bagamba nti omukazi akuzeemu mu myaka, bw'asumulula ensulo ne Kiyira tagoba! Kino nga kiva mu kuba nti mu myaka egyo aba ayize awamusumulula ppata,  Kiyira n'ayira. Jjukira abalongo balina ettaffaali lya maanyi mu kusumulula ppata za kiyira w'omukazi.

Era omukazi bw'agenda akula ate n'amanya nti afunye eyagudde mu katego, afiira ku kimu kya kuzigula balongo. Jjukira nti n'emiddo gyonna aba agyemanyidde. Abo abawala abato gye beemoolera nga batya n'okubuuza eddagala erinaabayamba mu kino, lyo ekkazi ekkadde lifuba kusamba nsiko kunoonya ntengotengo na muddo gwa Mukasa litere lyezigule.

Kati omulenzi omuto yenna bw'agwa mu katego k'omukazi bwati, n'alaba Kiyira bulijjo gw'aloota obuloosi, aba talina nsonga lwaki tasiisira kuba jjukira nti, "ssemuto wattira eggeege, wadding'ana omuya."

 Kuno bw'agattako ebbugumu ly'ebisambi ly'akuumira mu kwambala engoye empanvu nga gomesi ne makisi (abakazi abakadde tebatera kwambala nkunamyo), wamma ggwe mwana mulenzi n'asiisira. Ne bw'aba balo awaka, bw'alaba ng'emirimu gyo miyonjo ku ludda olwo, ajja kugidding'ana ng'alambula ekitiko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...