TOP

Omusajja talina 'waaka'

Added 14th March 2019

Ssenga nina omusajja talina waaka ate alina sitayiro emu yokka. Nkole ntya kubanga ntya okuswala ewaffe nga nfunye omusajja omulala.

 Talina 'waaka'

Talina 'waaka'

Ssenga nnina omusajja talina 'waaka' ate alina sitayiro emu yokka. Nkole ntya kubanga ntya okuswala ewaffe nga nfunye omusajja omulala. Omusajja ono namwanjula  era tuli mu nteekateeka za mbaga naye ndaba talina gy'antwala n'embeera eno. Omusajja baamundabira naye talina waaka.
 
Omusajja atalina waaka mpulira nti y'oyo atasobola kukumatiza ng'amalamu mangu akagoba. Bwe kiba bwekityo, kati nga bw'oyingidde obufumbo olina okulaba ng'ensonga eno ne ssenga wo mugibeeramu. Sigaanyi baamukulabira naye okumulekawo kiyinza obutalabika bulungi.

Ekigambo kya sitayiro emu abasajja abasinga gye batambuliramu. Sitayiro eno ya butonde naye tekigaana kukyusaamu. Abasajja abamu balowooza nti singa okyusa sitayiro obeera mugwenyufu, naye nga kino si bwe kiri. Abafumbo balina okulaba ng'okwegatta kubasanyusa era mu kubasanyusa, balina okuyiiya. Ono mwamiwo lwaki toyogera naye bulungi ku nsonga ya sitayiro.

N'ekirala oba takumazisa, lwaki tomubuulira? Kubanga okwegatta kwetaaga empuliziganya wakati wammwe. Ate abasajja abasinga kye batamanyi nti ennaku zino abakyala bakimanyi nti nabo balina okufuna essanyu mu kwegatta. Kale buli musajja oba omukyala alina obuvunaanyizibwa okusanyusa munne. Olina okufuna engeri gy'oyogera naye aleme kuwulira bubi.

Ate era mugambe nti bw'amalamu amangu akagoba kikuyisa bubi, ayige okukulindako. Kino kikole ng'olaba nti munno ali mu mbeera nnungi. Ate tobyogera nga mugenda kwegatta kubanga amaanyi gagenda kubulira ddala. Omusajja sigaanyi baamukulabira naye tolina kya kukola kubanga kati okwanjula kwaggwa, olina kufuna ngeri gy'oyogera naaye bulungi n'akyusamu.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...

Bannaddiini mu kuziika omugenzi Kibuuka Musoke.

Amagye ga Gavumenti ya Ethi...

ADDIS ABABA, Ethiopia ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu...

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

Ekiraamo kya Zizinga kiwuun...

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira....

Hajji Jamir Ssebalu.

'Abakozi mufeeyo ku mirimu ...

Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza...