
Waliwo omusajja twali twagalana n'awasa omukyala omulala ne bazaala n'abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa ayagala kumpangisiza nnyumba naye mpulira ntya lwakuba ate mmwagala okukamala. Simanyi kya kukola.
Mwana wange olina okwebuuza ddala ali siriyaasi akwagala oba ayagalam owulire bulungi.Oba alina ky'abaza ng'ayagala kukukozesa.
Kubanga mwana wange sooka weebuuze yali akwagala n'akuleeka kitegeeza nti yasalawo nti omukyala oli y'asinga. Ate era amuzaddemu abaana babiri kyokka takugambye nti amulese wabula ogenda kuuuka namba bbiri.
Siganye oyinza okubba nti ekyokubeera namba biri tokitya olw'omukwano gw'alina naawe, naye oba ddala asazeewmo ofuuke nnamba bbiri bw'akupangisiza ennyumba tekimala.
Lwaki takyala wamwe era takwanjula kubanga ekyo kiragga nti ddala akwagala ofuuke mukyal awe. Newankubadde omwagala weetegereze oba ddala mukwano. Olina okumwagala kaati kubanga ye yakuleeka.
Ate jukira basajja abaamu bagezi era nga kaybutonde. Abasajja abaamu bw'akwagalako ofuuka mukyalawe. Era tayagala kuwulira nti wafuna omusajja omulala.
Ate oluusi ayagala 'nakwagalirako awo naye nga tasalawo. Olwo n'akumalira obudde nga gwe alowooza nti akwagala naye ng'akukozesa.