
WALWAWO okubuulira omukyala nti olina omwana. Ate omwana ow'ekivubuka takuwa buzibu mwogerako kubanga mu buvubuka, bingi ebikolebwa.
N'ekirala ono omwana tomuzaalidde mu bufumbo ate era ne bw'omuzaalira mu bufumbo, tabeera na nsobi ng'omusajja olina okukuza abaana bo nga beemanyi n'okuuma omusaayi gwo nga guli wamu.
Kino tekitegeeza nti balina kubeera wamu oba okukulira awamu wabula balina okumanyagana.
Kino kiyamba amaka okubeera obumu okuggyako ng'omukyala gw'olina alina obuzibu naye kino tekisobola kuggya mukyala mu mbeera. Oba omukyala omutya, kozesa bannyoko oba bazadde bo ku nsonga eno.
Ne bw'ogenda mu bannaddiini, omwana ono talina musango alina okumanya baganda be ate tekigaana n'okukyalira mu maka gammwe. Kati oba amaze okusoma era alina kukolera mikolo wuwo kubanga mwana wo.
Ate ne mukyala wo oyinza omugamba ndowooza kati takutiisa ng'edda nga muli mumukwano.
Mwatulire nti akusonyiwe tewamugamba naaye olina omwana omukuulu. Beera muvumu kubanga bw'otokikola omwana oyo atandika n'okulowooza nti tomwagala. Siraba nsonga nkulu ekugaana okuzza omwana mu kika kye kuba talina musango.