
EKIRUNGI okimanyi nti yali nsobi ya maanyi. Omukyala ono oba ddala omwagala, kansuubire nti wamwetondera n'akitegeera nti yali nsobi.
Ekirala oluusi ensonga zino tosobola kuzeemalira wekka era olina okufuna abantu abakulu ne boogera naye. Naye nga mu butuufu wakola nsobi.
Ekitiibwa ky'amaka kirina okukuumibwa. Ate bw'otandika okuleetamu abakazi abalala, munno oba omuweebudde ate naawe oba owemuse.
Abasajja oba n'abakyala abamu kino tebakiraba ng'ekizibu naye kizibu kya maanyi ddala. Sigaanyi atandise okusiba naye tomanya ayinza okukyusa ekirowoozo naddala bw'akusonyiwa ate naawe ne weeyisa bulungi gy'ali.
Omwagala naye okusalawo kukwe era ssinga asalawo n'asiba, ensobi zino tulina okuziyigirako. Oyinza okukola ekintu kitono n'osubwa ekinene. Nkubira ku ssiimu twongere ku nsonga eno.