TOP

Ayagala tuddemu omukwano

Added 19th March 2019

n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana. Naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa era ampangisize ennyumba naye mpulira ntya lwakuba ate mwagala okukamala. Simanyi kya kukola.

 ssenga

ssenga

Waliwo omusajja twali twagalana n'awasa omukyala omulala ne bazaala n'abaana. Naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa era ampangisize ennyumba naye mpulira ntya lwakuba ate mwagala okukamala. Simanyi kya kukola.

Olina okwebuuza ddala omusajja ono ali siriyaasi nti akwagala oba ayagala owulire bulungi. Oba alina ky'abaza ng'ayagala kukukozesa. Kubanga sooka weebuuze, yali akwagala n'akuleka ekitegeeza nti yasalawo nti omukyala oli y'asinga. Ate era amuzaddemu abaana babiri kyokka takugambye nti amulese wabula ogenda kufuuka nnamba bbiri.

Sigaanyi oyinza okuba nti eky'okubeera nnamba bbiri tokifaako olw'omukwano gw'alina naye oba ddala asazeewo ofuuke nnamba bbiri bw'akupangisiza ennyumba tekimala. Lwaki takyala ewammwe era n'akwanjula kubanga ekyo kiraga nti ddala ayagala ofuuke mukyala we.

Wadde omwagala weetegereze. Olina okumwagala kati kubanga ye yakuleka. Ate jjukira abasajja abamu bw'akwagalako ofuuka mukyala we. Era tayagala kuwulira nti wafuna omusajja omulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaabadde bafulumya ebintu mu White House. Mu katono waggulu ye Biden ne Trump wansi ku ddyo.

Biden atandikira ku kuteree...

DONALD Trump 74 akung'aanyizzaamu ebibye n'ava mu maka g'Obwapulezidenti aga White House wakati mu kutolotooma...

Ntagali ku mukolo ogumu.

Ntagali yaani n'ebibonerezo...

NTAGALI Y'ANI 1. Yazaalibwa March 1, 1955 2. Yaweereza mu Bunyoro Kitara okuva 2002 oluvannyuma n'alondebwa...

Judith ne Rev. Tugumehabwe lwe baagattibwa mu bufumbo Obutukuvu.

Omukazi eyasudde Ntagali yaani

OMUKAZI aleetedde ebizibu Ssaabalabirizi eyawummula Stanley Ntagali ye Judith Tukamuhebwa abeera mu kibuga Mbarara....

Ono ekifaananyi kye akifulumizaawo.

Bakuba ebifaananyi ne babyo...

ENKOLA y'okukubisa ebifaananyi ne bimala wiiki ate olumu bigenda okudda nga tebyavaamu nga bwe byali bisuubirwa...

Kadaga

Entalo mu NRM zisittuse but...

ENTALO mu kibiina kya NRM zisittuse buto nga zisimbuka ku byavudde mu kalulu k'ababaka ba Palamenti. Abamu ku...