TOP

Ssezaala yannemesa eddya

Added 23rd March 2019

GYE nnakoma okwesunga essanyu mu bufumbo gye nkomye okulaba ennaku olwa ssezaala wange okwekiika mu mukwano gwaffe n’omwami wange eyankuba empeta. Nze Nnaalongo Sarah Kimbugwe 30, mbeera Kitintale.

 Nnaalongo Kimbugwe

Nnaalongo Kimbugwe

Ekimbobbya omutwe ye ssezaala wange anfuukidde ekizibu n'atuuka n'okutwawula ne baze. Nga sinaayingira bintu bya mukwano, obudde bwange obusinga nabumalanga mu Kkanisa nga ntedereza Katonda n'okumusaba obufumbo obutukuvu.

Essaala yange yatuukirira mu 2016 omu ku bakulembeze mu Kkanisa mwe nnali mpeerereza bwe yampita n'antegeeza nga bwe waliwo omuvubuka eyali ayagala omuwala ow'okuwasa ng'alina eddiini.

Bwe natuuka mu woofi isi y'omukulu, omuvubuka gwe nasangayo, twali twasisinkanako dda mu mpaka z'okuyimba mu Kkanisa naye nga tetwagenda wala. Olwokuba omuvubuka yali atera okwenyigira mu by'eddiini, n'amukkiriza era ne mutegeeza nti njagala mbaga ekintu kye yakkiriza.

Namwanjula mu bazadde ne tukola n'embaga mu 2016. Nasanyukira famire eno empya gye nnali nfunye kuba nayagalwa okuviira ddala ku ssezaala wange okutuuka ku bato abasembayo. Ku ntandikwa, nanyumirwa obufumbo anti nga buli kye njagala kye bampa.

Wabula nga bwe bagamba nti essanyu teribeerera ekiseera kyatuuka ssezaala wange n'atuuka nga takyayagala kuntunulako n'atuuka n'okuteeka mu mutabani we ebigambo ng'ayagala twawukane.

Olw'okwagala obufumbo bwange, ssezaala bye yakolanga nga sifaayo.

Nafuna olubuto olwasooka naye ne luvaamu nga lwa myezi esatu naye ne ηηuma ne nsaba Katonda okumpa ezzadde nange nsobole okweyagalira mu bufumbo bwange nga ndowooza nti kyandiba nga kye kitabula ssezaala wange. Nga wayise ebbanga, nafuna olubuto olwokubiri ne nzaala abalongo.

Ate wano ssezaala wange yeeyongera okutabuka n'ayagala n'okwezza obuyinza obusinga mu maka gaffe nga tatuwa na mwagaanya kubaako kye twekolera.

Omwami wadde nga yali ampulirizaamu akatonotono nako yatuuka nga takyampa budde kumunnyonnyola olw'ebigambo ssezaala bye yamugambanga.

Ennaku yannuma, omulongo wange omu Wasswa bwe yabuuka nga wa wiiki bbiri naye aba famire ne bandaga nti tebafuddeyo era okuva olwo ne nnetamwa.

Ssaalongo yatuuka ekiseera n'atandika okwegaana Kato ng'agamba si wuwe ekintu ekyannuma kubanga nali mpa eddiini yange ekitiibwa era bwe yakikola enfunda eziwera ne nsibamu ebyange ne nzira ewa jjajjange e Kitintale n'omwana wange ono.

Nga wayise ebbanga nga nvudde ew'omusajja ssezaala wange okumanya yali mujoozi, yasalawo n'okunzigyako omwana wange Kato ku myezi mwenda ng'agamba nti ndi mulalu, n'okutuusa kati siddangamu kumulabako ekintu ekimazeeko emirembe.

Nsaba ab'obuyinza okunnyamba banzirize omwana mwekulize kubanga omutima gw'obuzadde gunnuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...