TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukyala mukulu takyanfaako: Nswala okuleeka amaka gange amakulu naye sirina mirembe!

Mukyala mukulu takyanfaako: Nswala okuleeka amaka gange amakulu naye sirina mirembe!

Added 17th April 2019

NNINA omukyala omukulu n’omuto. Omukyala omukulu yali anfaako nnyo naye bwe nafuna omuto, kati omukulu tafaayo n’akamu. Era jjuuzi yaηηamba nti oba kisoboka ηηende mbeere ewa mukyala muto ate nga nze nkyamwagala.

Okufuna omukyala owookubiri yali nsobi kubanga namufunyisa olubuto abazadde ne baηηamba mutwale.

Buli kimu nkikola mu maka gange gombi naye omukyala omukulu yeeremye ayagala mmuviire ate nga tulina abaana abakulu. Nkoze ntya? Nswala okuleeka amaka gange amakulu naye sirina mirembe.

OKUSOOKERA ddala teri mukyala ayagala kufumba na muggya we. Ate ennaku zino abakyala abasinga kino kibayisa bubi. Edda abakyala embeera eno yali tebayisa bubi nga tebalina bwe basobola kugaana.

Newankubadde kyabalumanga naye tebaalina we boogerera. Kati omulembe ogwo gugenda guggwaawo mpola.

N'ekirala newankubadde wafunyisa omuwala olubuto abazadde tebasobola kukuwaliriza kutwala muwala.

Obuvunaanyizibwa bw'obeera nabwo kulabirira mwana n'ekirala ne nnyina w'omwana oyinza omuzzaayo mu ssomero bw'aba yafuna olubuto ng'akyasoma.

Kati bw'ogamba nti abazadde baakuwaliriza tebiriiyo kubanga oli muntu mukulu era weesalirawo.

Kirabika naawe wali oyagala omuwala ono. Ensonga ze mulimu oluusi abazadde basobola okubayambako.

Kubanga omukyala omukulu alina okumanya nti ensobi zibeerawo mu maka era nze ndaba nti yandisigadde mu maka ge n'akuza abaana be.

N'ekirala naawe omwami okyamwagala ndowooza nti ssinga afuna okubuulirirwa anaaguma n'afumba.

Nkubira ku ssimu 0772458823 twogere kusonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu abatandise okudda mu kibuga.

Abantu batandise okudda mu ...

EMIRIMU gy'obusuubuzi mu Kampala gyongedde okudda mu nteeko oluvannyuma lw'okulonda okwabaddewo ku Lwokuna lwa...

Dr. Namulwana

Obuganda bukungubagidde Dr....

OBWAKABAKA bukungubagidde omugenzi Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika eyafudde ku Ssande obulwadde bwa ssenyiga...

Babirye

Omusajja yatutundako ekiban...

ABAKAZI abasuulawo abaana olw'okuba abasajja babakyaye kikyamu. Olina okutuula n'okuza ezzadde lyo okusinga okubalekera...

Nabilah ne Lukwago

Olutalo lwa NUP ne NRM luzz...

OLUVANNYUMA lwa NRM ne NUP okuvuganya ennyo mu kalulu ka Pulezidenti n'ababaka ba palamenti, kati olutalo luzze...

Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni nga bamulangira ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka wa Mukono North.

Ababaka abayise mu ttanuulu

ABABAKA bamu okuyingira palamenti bakumyumya nga lutabaalo, kubanga yabadde nsiitaano nga baabuuse ebiwonvu n'emigga....