TOP

Omusajja abba emmere kkoyi !

Added 17th April 2019

Nze Harriet Nalwanga 25. mbeera Kaleerwe . Twasisinkana ne baze mu 2014 e Makerere Kavule ng’asomba sikulaapu, nze nga nnina omudaala gw’ennyannya ku kaleerwe.

Ono yali omu ku bakasitoma bange abangulangako ennyannya era mu mbeera eyo yatandika okumpaana n'okunsuubiza eggulu n'ensi ssinga nzikiriza okumuganza.

Yantegeeza nti engeri ffenna gyetuli mu mbeera ey'okweyiiya bwe tuneeyagala ne tugatta ssente ze tukola, tujja kukulaakulana.

Nalaba nga byayogera bya magezi okusinga ku basajja abazzenga bankwana, bwentyo saamulwisa nga nzikiriza nga tutandika kwagalana.

Nava ne mu kazigo ke nnali mpangisa ne ntandika okubeera naye newankubadde tetwalina ssente naye nga ffenna tuli banyiikivu mu kukola.

Baze ng'akeera n'agenda okulonda sikulaapu we nange ne hhenda ku mudaala gwange ku Kaleerwe.

Nga bwe yali ansuubizza nti tukole tutereke ssente twekulaakulanye baze yasooka ng'anteresa ssente nga bwe ngattako n'ezange tusonde tusobole okugula ku bintu by'omu nju.

Wabula kino yakikola emirundi bbiri ebbanga eryaddako nga bwe mubuuza ku bya ssente ngakambuwala kyokka ng'ezange ayagala okumanya wa weziri. Nalaba atandise kweyisa bwatyo ne mwesonyiwa wabula nga nange ssente zange simuganya kumanya gye nzitereka.

Wabula lumu nagenda okukebera ssente zange gye nazitereka saasanga yo wadde 100/- ne mubuuza ne yeegaana n'agattako n'okunkuba.

Oluvannyuma omulimu yaguvaako nga takyayagala kukola nga nze ntandise okulabiria awaka n'okusasula ennyumba, ate endala ng'azitwala nazinywamu omwenge ate nakomawo n'ankuba okubula okunzita.

Ebyo byonna nali mbigumidde naye yafuna omuze gw'obubbi ng'abba n'emmere mu ntamu.

Yageranga tumaze okulya nga tuleseemu ay'abaana gye banaalya kyokka nga musajja mukulu ono agiddako n'ajibba.

Nga bwe mugambako nga yeegaana n'ankuba nti muswaza nti abba emmere.

Jjukira nti twali tufunye abaana naye nga tampa wadde buyambi wadde fiizi. Nagenda okulaba ng'omuze gukula bukuzi ne nsalawo okumuviira.

Nsaba abasomi ba bukedde okunyamba nga bayite ku nnamba eno 0756647500. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapoliisi nga balawuna mu Kampala.

Okunoonyereza kulaze ebibul...

OKUYITA mu kunoonyereza kwa Vision Group etwala ne Bukedde, Bannayuganda balaze ebyokwerinda n’obutebenkevu bwe...

Nakibinge

Kasikonda amusse ayigga kalulu

KASIKONDA akutte eyeesimbyewo ng'anoonya akalulu n'aziyira. Amulumye okumala ennaku nnya ng'assiza ku byuma oluvannyuma...

Abasawo nga bassa omwana mu ‘incubator’

Bafunye ebyuma ebibikka abaana

OMUWENDO gw'abaana abafa nga tebannatuusa myezi 9 (kwe balina okuzaalibwa) mu disitulikiti y'e Kamuli, Buyende...

Katuukiro (owookubiri ku ddyo), Polof Kisambira (akutte akazindaalo) ne baminisita ba Busoga.

Kyabazinga akungubagidde Ntalo

KYABAZINGA wa Busoga William Wilberforce Nadiope IV akungubagidde Vincent Ntalo Kakete taata wa Katuukiro we, Dr....

Nassimu Kyazike.

'Muntaase munponye okusula ...

OMUSERIKALE wa UPDF abafere gwe baalimba okuguza enju ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu n'okumubbako obukadde...