TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okukola kunnemesezza obufumbo bwange

Okukola kunnemesezza obufumbo bwange

Added 19th April 2019

NZE Ruth Nabukeera 28, ndi mutuuze w’e Gombe ekisangibwa mu disitulikiti y’e Wakiso.

Nnina abaana mukaaga be nazaala mu baze eyanneefuulira oluvannyuma lw'okutandika okukola obupakasi ku kyalo nsobole okumuyambako okutuukiriza obuvunaanyizibwa mu maka. Okulaba baze, nnali mbeera wa ssenga e Kyamufumba mu Luweero.

Obudde obwo nalina emyaka 18 nga sikyasoma. Ekyasinga okumpaliriza okufumbirwa omusajja ono, olumu nali mbeerako ewa muka kitange ng'embeera gye mpisibwamu si nnungi.

Mu March wa 2008, yajja nakyala mu bakadde bange mu butongole ekyansanyusa ennyo era ne nneeyongera n'okumwagala.

Mu biseera obufumbo bwaffe bwali mu mirembe myereere ekyalaga nti ebiseera byaffe eby'omu maaso bitangaavu.

Mu 2012 nga maze okuzaala omwana waffe owookubiri baze embeera ze zaatandika okukyuka ne tutandika okuyombagana buli kiseera.

Ekimu ku byamutabula kwe kutandika okukola ogw'obupakasi ku kitundu kwe twali tubeera. Kino kyamunyiiza era n'angoba mu maka ge.

Nasooka eby'okukola ne mbivaako kuba nnali njagala obufumbo bwange. Wabula omuwendo gw'abaana be twali tuzadde bwe gweyongera n'obuvunaanyizibwa ne bweyongera,era nawaliririzibwa okuddamu okukola.

Baze yatabuka nava n'awaka okumala ennaku ‘Abantu kye bagamba' ssatu era bwe yakomawo yasibako ebintu byange n'abifulumya wabweru nti mmuviire.

Kw'olwo ensonga zaggweera ku poliisi e Matugga okusobola okusigala mu maka n'abaana bange.

Mu kiseera kino takyampa bulungi buyambi bwa waka n'okuweerera abaana. Nze nnina okulaba nti bagenze ku ssomero wamu n'okulya .

Nsaba abasomi b'olupapula lwa Bukedde abalina omulimu oba ssente okunziruukirira ku nnamba y'essimu; 0751472239.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...