TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri gy'otetenkanya owa laasitiika eziragaye

Engeri gy'otetenkanya owa laasitiika eziragaye

Added 24th April 2019

BW’OMANYA nti laasitiika zaagaziwa weeyunire nnyo sitayiro ya misonale, ate weewale ez’okukutama n’omusajja okusinziira emabega.

 Omusajja ng’aleegudde ‘labbabbandi’. Laasitiika z’omu bukyala bwe ziggwaamu zina tezikyakwata.

Omusajja ng’aleegudde ‘labbabbandi’. Laasitiika z’omu bukyala bwe ziggwaamu zina tezikyakwata.

Ekirala, ggwe omusajja bw'omanya nga munno alagaye, weewale sitayiro ezaawula ennyo amagulu, kubanga zireeetra ebinywa okuta ennyo.

Kozesa ezo z'olaba nga zimuwumbawumba, mujja kumalako. Wabula omukyala okwewala embeera eno, weerwaneko mangu ofune engeri y'okweddaabiriza. Eddagala erifunza n'otereera gyeriri ng'erimu liba lya kutuulamu n'eddala nga lya kusonseka mu bukyala okusinziira bw'oyagala okukikola.

Hamida Namatovu nga naye abudaabuda baagalana mu by'omukwano agamba nti laasitiika zisinga kugasa mukazi, wadde nga n'omusajja aba azaagala.

Omukazi buli lw'amiima omusekuzo muli awulira bulungi era n'obuswandi ne bweyongera kubanga munne abeera amuwulira bulungi engeri gy'asuukiira olwo ate obwagazi ne bulinnya buto.

Ssinga kino akikola bulungi tayinza butatuuka ku ntikko ya mukwano, sso nga n'omusajja abeera anyumirwa nga munne amunywezezza bulungi.

Dokita Serwadda agattako nti okugaziwa kw'omukyala kya bulijjo era nga kiva ku mbeera zino; Okuzaala; Abakyala abamu bapasuka nga bazaala kale ssinga omusawo teyeetegereza gw'azaazisizza kulaba wapasuse n'atamutunga ayinza okusigala ng'agaziye.

Ekirala omukyala bw'azaala abaana abangi ebinywa (muscles) ebiyitibwa ‘pelvic diaphragm' binafuwa be bigaziwa.

Mu nzijanjaba y'ekisawo omuntu anafuye ebinywa asobola okukolwako ekiyitibwa ‘plastic surgery' ne babisika okudda mu mbeera yaabyo ey'obutonde naye nga kino tekitera kukolebwa wano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...