TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Muggya wange gwe baaleeta awaka yawunzika asibyemu ebibye

Muggya wange gwe baaleeta awaka yawunzika asibyemu ebibye

Added 29th May 2019

BW’OTABEERA mugumiikiriza mu nsonga z’omukwano oyinza okuwunzika ng’obyesonyiye oba ng’ogudde eddalu olw’ebizibu ebigulimu. Nze Nafunamurungi mbeera Seeta Nantabulirirwa.

Mu 2008 nga naakamaliriza emisomo gyange nafuna omwami gwe nali neenyumiririzaamu olw'embeera ze.

Mikwano gyange gyagezaako okundaalika okuba omwegendereza gyali olw'ensonga nti yali ansingako ku myaka naye olw'omukwano omungi gwe yalina gyendi mu kusooka, gwanziba amaaso ne nkyawa ne mikwano gyange ku lulwe nga simanyi kye nneetwalira.

Twalabaganira ebbanga lya myezi mukaaga n'ansaba okumpasa era n'akkiririzaawo kubanga n'ewaka nali nkooyeewo.

Ebintu byasooka ne bitutambulira bulungi mu myezi egyasooka naye mu bbanga ttono yatandika okundaga embeera ze entuufu. Ng'oggyeeko effugabbi, ebbuba, ejjoogo n'emize gye emirala, omwami wange yakola kye nnali ssimusuubiramu bwe yaleeta omuwala n'amuteeka mu maka tugafumbemu babiri.

Mu bulumi obungi, nayogerako ne munnaddiini omu eyansaba obutamwabulira.

Bwe nnamubuuza ekyamukozesa kino yantegeeza nga bwe yali ankooye.

Baatandika okukola enteekateeka z'okwanjula ew'omukyala ono olwo nga naye akalambidde nga bw'atasobola kufumba nange era bwatyo yamuggyawo n'amupangisiza ennyumba awalala.

Nafuuka eky'okuvumwa buli lunaku okuva ewa muggya wange. Byannuma, nnakaabanga amaziga buli lunaku olw'ejjoogo ly'ababiri bano era ekiseera kyatuuka ng'omwami takyadda waka.

Mu byonna seerabira kusaba Mutonzi era nga bwengattako n'obugumiikiriza bye nnalina byasobola okuntaasa.

Mu bbanga ery'emyaka ebiri, omwami wange lye yali agenze namwekuumira kubanga nze nali mwagala ate nga ndowooza nti naye yali anjagala era nkyewuunya ekyali kimukyusizza amangu gatyo.

Yamala ebbanga ng'anneetondera era olw'omukwano omungi gwe nalina gye yali nasobola okumuddiramu.

Yasasula ennyumba mu kifo ekirala wabula ne muteerawo akakwakkulizo k'okwekebeza nga tetunnaddingana mu bufumbo era n'akkiriza.

Wabula yagaana okumbuulira ekyamutabula n'omukyala  omupya gwe yali afunye nga ne bwe mubuuza tayagalira ddala kumuwuliza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...