TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyandekera abaana abato oluvuddemu n'abanzibako

Eyandekera abaana abato oluvuddemu n'abanzibako

Added 12th June 2019

Eyandekera abaana abato oluvuddemu n’abanzibako

ENSOBI z'omukwano abamu basinga kuziteeka ku basajja era nti be bavaako obuzibu naye nga n'abakazi bangi si batuukirivu. Nze Denis Wamala Mawejje 44, mbeera Nansana.

Ndi makanika ewa Mambule e Bwaise. Mu 1999, nafuna omuwala eyasooka okundaga empisa era nga kye kyampaliriza n'okumuwasa. Mu 2000 yazaala omwana asooka nga muwala.

Bwe yamala okuzaala, we yatandikira okukyusa empisa nga buli kiseera abeera ayomba ne ntuuka n'ekiseera ng'awaka ntyawo. Mu 2003, yazaala omwana owookubiri omulenzi era kati wa myaka 14. Wano eyali ayomba okukamala.

Yatuuka ekiseera ng'ayagala na kuneesimbamu kunkuba naye ne ngumira buli kimu kuba abaana bange baali bakyali bato ate nga mbaagala. Kale ng'omukazi sisobola kumugoba

. Wabula lumu mba hhenze ku mulimu, nasanga asibyemu ebibye ng'agenze ng'abaana bange abalese mu nju bokka. Omulenzi yali wa myezi mwenda ate omuwala nga wa myaka esatu wamma ne nsoberwa bwe nnali hhenda okubitandika.

Nafuna omukozi n'abalabirira era omuwala olwatuuka mu P1 ne mmuteeka mu kisulo mu ssomero erimu e Kanyanya gye yasomera okutuuka mu P7. Bwe yavaayo ne mutwala mu siniya e Bunga okutuuka mu S4 mu 2018. Mu luwummula, nnyina yamubba n'amutwala era ne nsigaza omwana omulenzi era nga naye abadde mu kisulo e Bombo. Mu luwummula abadde abeera ne ssenga we e Nansana naye maama we n'amubba nga May 17, omwaka guno.

Maama we ng'amaze okumutwala, omwana yakubira ssenga we n'amutegeeza nti maama we yamututte e Nateete. Ngezezzaako okumunoonya naye ambuze.

Ekyewuunyisa omwana ayogera amazima naye nnyina abyegaana nti tamubbangako. Mbadde njagala abaana bange basome naye omukazi yabakweka simanyi gye bali. Ensonga nazitutte ku poliisi y'oku Kaleerwe ku fayiro nnamba SD REF:25/17/05/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono