
Twasisinkana ne baze mu 2003 e Jinja nga mpeereza mmere mu kawooteeri.
Omukwano gwaffe gwatandikira mu ggiya era n'ansuubiza ensi n'eggulu okwali n'okukola obufumbo obutukuvu oluvannyuma lw'okwanjula.
Yapangisa omuzigo e Bugembe mu Jinja era mwetwatandikira amapenzi gaffe.
Twazaala n'abaana bana wabula oluvannyuma omulimu gwa baze gwaggwaawo olwo nga buli kimu kizze ku nze.
Nasalawo nzije e Kampala nnoonye ku mirimu egiyingiza ku ssente eziwerako olwo baze ne mmuleka mu kyalo n'abaana ng'akola ogw'okulima.
Natuukira mu katale ka Bivamuntuuyo ku Kaleerwe ne ntandika okusuubula obummonde, ssente nga nzifuna bulungi era nga bwe nziweereza mu kyalo okuweerera abaana endala ne nziwa baze abeeko bizinensi gy'atandikawo tugaziye ebyenfuna.
Oluvannyuma baze namusembeza mu kibuga tubeere ffenna era ne mmuwa ssente okutandika bizinensi y'okutunda amanda eyamukolera eenyo kuba ssente yazifunanga.
Wabula yalaba ziweze kwe kutandika okuzannya bbeetingi, ssente ne zigenda nga ziggwaawo mpolampola ne bizinensi n'ezikirira.
Bwe namubuuzanga ku by'okukola ng'adda mu kwebuzaabuza okutuusa lwe nnamuvaako ng'olumu bitandise n'okumuyombya.
Beetingi yatabula amaka gaffe bwe nakizuula nti yali atandise n'okuso-mola ssente z'akabo-kisi ze naterekanga.
Kino kyannyiiza nnyo kuba buli ssente ze naterekanga awaka ng'azibba ne ntuuka okuddayo ku zeero kyokka bwe yalaba ankalizza nga ne KCCA etugobye mu butale n'anzirukako nga ndi lubuto lwa myezi ebiri. Kati ndi awo mu kwemagaza nga nsobeddwa ekiddako!