TOP

Obuvunaanyizibwa butuuse okunnema

Added 9th July 2019

NNINA ekizibu bannyinaze banneesinga okwogera n’abaana baabwe abawala naye abawala bakuze, bw’obayita obabuulire ku nsonga ez’okukyalira ensiko tebasobala kukkiriza kubalaba. Era baagaana kati obuvunaanyizibwa mbukoze ntya?

Bw'oba ng'abaana bano tobadde nabo, nga bakulaba nga ssenga ate ng'ogezaako okubeera mukwano gwabwe kiba kizibu okutandika okwogera nabo ku nsonga nga zino. Naawe weeteeke mu mbeera gye balimu.

Oli ssenga naye tebakumanyi bulungi ng'obagamba okwefungula obalabe oba abasike! Era y'ensobi eriwo ennaku zino.

Bassenga babeera waabwe tebakyala kulaba ku baana baabwe. Omwana bw'avubuka ne balowooza nti banaatandikira awo okumuyamba ekitali kyangu.

Bw'oba oyagala okuyamba abaana bamwannyoko beera mukwano gwabwe okuva nga bzto. Edda bassenga kye baakolanga, nga bakyala okulaba ku baana.

Ate oluusi nga babeera kumpi kale nga n'omwana basobola omusindika mu luwummula okulaba ku ssengawe.

Naye kaati tekisoboka. Bassenga era oluusi abaana babagaana mu kwanjula ne baleeta abakyala abatali bassenga.

Ky'olina okukola kukwana mwana ono bw'oba oyagala akkirize by'olina okukola nga ssenga.

Ate bw'agaana mwesonyiwe kubanga tekiyamba kwesiba ku muntu nga takwagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...