TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukyala wange alina omuzze gw'okugenda ku dduuka ekiro nga nkomyewo!

Mukyala wange alina omuzze gw'okugenda ku dduuka ekiro nga nkomyewo!

Added 9th July 2019

MUKYALA wange alina omuzze gw’okugenda ku dduuka ekiro nga nkomyewo, ate bw’agenda alwayo nnyo kumpi ssaawa ssatu nnamba ate ng’amaduuka gali kumpi. Ngezaako okugula buli kintu nga nkomawo naye era afuna akasonga akamutwala ku dduuka. Nkole ntya?

Saagala kumugoberera kubanga muntu mukulu era amanyi ky'akola. Omukyala ono olina okwogera naye bulungi ku nsonga eno.

Kubanga omukyala yenna okubeera ebweru ng'omwami ali waka awatali nsonga si kirungi n'akamu.

Abakyala abasinga kino tebakimanyi era tebafaayo ku ssaawa ze babeera ebweru.

Ate weewuunye omwami bw'ayingira ggwe ng'omukyala olina okumwaniriza era n'ogezaako okubeera awaka kubanga obudde obwo bwa mugaso nnyo eri omwamiwo era n'abaana bo.

Kati bw'ofuluma ennyumba nga munno akomyewo ate n'omalayo ebbanga sikitegeera bulungi.

Mwana wange gwe mwami awaka era oli waddembe okugaana omukyala ono okufuluma awaka ng'okomyewo.

Ate akikola kiro kitegeeza nti ky'agenda okukola tayagala balala bakirabe. Oba ng'awaka asiibawo lwaki tafuluma ng'obudde bulaba oba emisana naye n'asalawo okuva awaka nga wooli. Kitegeeza nti ekimutwala kirina kubeerawo kiro.

Ono omukyala aleme kukujooga kubanga abamu bw'alaba nga tomugambako ng'agufuula muze.

Oba alina omusajja gw'agenda okulaba ku ssaawa ezo? Mugambeko akikomye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...