TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga, mukyala wange alemedde ku ddogo

Ssenga, mukyala wange alemedde ku ddogo

Added 13th July 2019

SSENGA, mukyala wange aloga nnyo era mpulira mukooye. Mmaze ebbanga nga mmugamba ku nsonga eno naye tawulira. Namugamba nti nze okumwagala saamuloga naye agaanye okukitegeera. Ankoze ebintu bingi naye sikyuka kubanga ekisookera ddala siri mwenzi era ye mukyala gwe nnina yekka. Kino nakisalawo kubanga saagala kubeera na bizibu mu maka gange. Ssenga nkoze ntya?

MWANA wange weebale ebbaluwa eno. Abakyala n'abasajja bangi ennaku zino balina omuze gw'okuloga ng'ate baatandika mpola naye ne gufuuka omuze.

Bangi tebamanyi nti ssente zigendera bwereere ate nga n'abaana basobola okuyiga empisa zino. Omuze gw'omuntu bwe guba gukuze kiba kizibu okugumuggyamu.

Abakyala bangi balina endowooza nti omusajja olina okumuloga okukwagala oba obutakulekaawo. Abakyala bonoona ssente nnyingi mu kuloga.

Gezaako okwogera n'abantu abakulu bagezeeko okwogera naye. N'ekirala oyinza n'okugaana okulya emmere awaka olabe oba asobola okukyuka. Baana bange abawala muve mu kuloga kubanga oba weeroga wekka.

Bw'olowooza nti omusajja mwenzi ate nga tayenda ogenda okulaba ng'alaba obubonero obulaga nti ayenda. Kati musajjawattu ono tayenda naye omukyala amuloga.

Teri musajja ayagala kumanya nti omuloga, kale mwegendereze era okuloga mukuveeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...