TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebikolwa 12 ebiraga obwenzi mu baagalana

Ebikolwa 12 ebiraga obwenzi mu baagalana

Added 24th July 2019

OBWENZI gwe gumu ku mize egivumirirwa. Era n’amateeka agaakwasibwa Nabbi Musa, obwenzi bwagaanibwa abakkiriza era nga lino tteeka lyakutaano.

 Omusajja ng’alina by’akebera ku ssimu ng’omukazi bw’amukubye oluuso olulaga obukambwe.

Omusajja ng’alina by’akebera ku ssimu ng’omukazi bw’amukubye oluuso olulaga obukambwe.

Wabula wadde guli gutyo, era nga bwe kiri ne ku mateeka amalala ag'eddiini n'agensi, era bangi bagamenya.

Obwenzi bwesibwako nnyo kubanga abakkiriza bakimanyi nti gwe muze ogukolebwa ku mubiri gw'omuntu sso ng'omubiri ye yeekaalu ya Katonda.

Ng'oggyeeko okwegatta mu bikolwa ebyobwenzi, waliwo ebintu omuntu by'akola nga nabwo bwenzi, wadde ng'emirundi mingi abeera akikola alaba ng'omutali makulu. Era munne bw'amunenyaako ayinza okumulaba ng'ayagala okumusojja ku luwonzi.

Ekimukoza kino kwe kuba nga ye mu mutima abeera akimanyi nti teyeenyigidde mu bwenzi kubanga talina muntu mulala gwe yeegasse naye. Wabula nga bwe weetegereza embeera ezo bubeera bwenzi ddala.

Embeera zino oluusi bazissaawo mu butanwa ate abalala bakigenderera, wabula ne batakitwala nti nabwo buba bwenzi, okugeza;

1 Okuddamu obubaka bw'omuntu gwe weegwanyiza oba akwegwanyiza ng'oli n'omwagalwa wo. Mu bulamu tubeera n'abantu abatwegwanyiza oba be twegwanyiza, naye muyinza okuba nga temutuukanga ku ssa lya kwegatta, oba nga naawe okimanyi nti tojja kwegatta na muntu oyo.

Wabula ssinga akuweereza obubaka ku ssimu ng'oli n'omwagalwa wo, n'obuddamu, manya nti obeera weenyigidde mu bwenzi mu birowoozo.

2 Bwe weesanga nga bw'oba oyogera n'omuntu oyo nga muli n'abantu abalala, toyagala abalala bawulire bye mwogerako, kino kiraga nti olina ekifo eky'enjawulo we wamuteeka mu bulamu bwo, so ng'ate si ye mwagalwa wo.

3 Bw'otuuka mu mbeera nga toyinza kubuulira mwagalwa wo omuntu gw'obadde naye, wadde nga temubadde mu bya kwegatta, nakyo kiraga nti omuntu oyo olina engeri gy'omulinnyisizzaamu eddaala n'omuteeka ku ddaala lye limu n'omwagalwa wo, era oteekwa okuba ng'omulowoozaako mu ngeri ya njawulo nnyo.

Obutayogera oluusi kikolebwa olw'okutya omwagalwa wo ky'anaakuwolereza. Wabula nga kabonero akalaga nti ekyo ky'okola kikyamu.

4. Bw'oba weesanga  nga weeyogerako ng'atalina mwagala, so ng'omulina kabe kasinge ng'oli mufumbo nakyo kiraga nti olina ebirowoozo by'obwenzi mu mutima gwo. 

Kino kibaawo nnyo ssinga omukazi oba  omusajja yeesanga ng'alina omwagalwa gw'amaze naye ebbanga nga baagalana, kyokka nga tebakolanga mikolo. Wabula waliwo n'abafumbo era abatuuka mu bifo ebimu ne beeyanjula ng'abatalina baagalwa olw'ebigenderwa byabwe eby'enjawulo.
 
Buli lw'olaga abakulaba nti toli mufumbo kitegeeza nti obeeramu n'ekirowoozo ky'okufunayo omulala okuva awo we muli, era kino kiraga bwenzi mu mutima gwo.
 
5 Okunyumya ku nsonga z'omukwano n'akaboozi n'omuntu atali mwagalwa wo. Kino kibaawo ssinga omusajja oba omukazi afuna omuntu gwe yeegwanyiza ne batandika okunyumya ku nsonga z'omukwano n'akaboozi.
 
Oluusi bayinza okuba nga teboogera maaso ku maaso wabula nga beeweereza obubaka ku ssimu nga bulimu obubaka bw'omukwano. Buno bubonero bwa nkukunala obulaga obwenzi, wadde nga muba temwegattangako wadde okulabaganako maaso ku maaso.
 
6 Okwambala engoye n'ekigendererwa ky'okusikiriza omuntu omulala atali mwagalwa wo. Abasajja batera okwemulugunya olwa bakyala baabwe abatafaayo kwenyiriza nga bali awaka, wabula bw'aba alina gy'alaga olwo ne yeekolako n'atonnya mmooli.
 
Abasajja abamu kye basoma mu kino kwe kuba nti eyo omukazi gy'alaga, alina abasajja abalala b'ayagala okusikiriza. Ate mwattu era kino oluusi kibeera kituufu.
 
Buli lwe weesanga nga bw'oba oyambala mu birowoozo byo birimu bantu balala b'oyagala okunyiririra, naddala nga ba kikula kirala ku kikyo, ako nako kabonero ka bwenzi ddala.
 
7 Bw'oba waakulya ku kaasi, naye ng'abantu b'oyagala okugenda nabo temuli mwagalwa wo, kano nako kabonero ka nkukunala akalaga nti takuli mu birowoozo, era olina abalala be wamusikiza.
 
Omuntu bw'aba ayagala munne okuva ku ntobo y'omutima gwe era nga ‘tamutikkiramu', kiba kizibu ate okulowooza ku bantu abalala naddala bwe kituuka ku nsonga y'okucakala n'okulya obulamu.
 
Ojja kwesanga ng'omuntu oyo gw'asinga okwagala okucakala naye amwagala mu mutima wadde oluusi bayinza okuba nga tebeegatta oba nga n'ebya laavu tebabyogerangako, naye era kiraga nti ebirowoozo ebirina okubeera ku munno wabiteeka ku mulala.
 
9 Bwe weesanga ng'ogeya omwagalwa wo n'omuntu omulala, naddala nga gw'oyogera naye si wa kikula kyo, nakyo kiraga bwenzi. Okugeza bw'oba mukazi ne weesanga ng'olina mukwano gwo omusajja ng'omubuulira ebifa ku mwagalwa wo, obeera otemye oluwenda lw'obwenzi. Era bwe kiri ne ku musajja.
 
Ate ekizibu abasajja ebiseera bingi w'atuukira okwogera ku mwagalwa we n'omukazi omulala, abeera amugeraageranya, era omukazi bw'aba omwangu, kizibu obutatenguka.
 
10 Okugoberera omuntu ku mutimbagano gwa kompyuta. Ennaku zino abaagalana bangi abeefunira ku ‘facebook' ‘Whatts App' n'emikutu emirala.
 
Bwe weesanga ng'olina omuntu atali wa kikula kyo gw'ogoberera ennyo ku mikutu gino ate ng'akusikiriza, kyangu omutima gwo okutandika okumwagala n'omusikiza omwagalwa wo. Kino oluusi kiba mu bugenderevu, naye ate olulala oyinza okwesanga obwesanzi ng'olina omuntu gw'ogoberera, ate n'atandika okukusanyusa.
 
12 Ssinga osisinkana eyaliko omwagalwa wo n'otokitegeeza mwagalwa wo, nakyo kiraga nti munno tomwemalirayo, sinakindi nti oyinza okuddamu okwagalana n'eyaliko muganzi wo. Kirungi ekyo ky'oba okola osooke weefumiitirize nti ssinga omwagalwa wo y'abeera akikoze ggwe wandiwulidde otya oba wandikitutte oya?
 
Ekirala, buli lw'oba ogenda okukola ekintu ne weesanga nga weebuuza oba kirungi oba kibi, kabonero akalaga nti si kituufu, kubanga ebikolwa ebituufu era ebitaliimu kantu konna byeraga lwatu, era buli omu abeera abiraba, oluusi awatali na kwebuuza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...