TOP

Gwe nawa ez'ekyeyo yankasukabweru

Added 27th July 2019

NNEJJUSA olunaku lwe nasisinkana omuvubuka gwe natuuka n’okuwa ssente yange eyammenya ku kyeyo wabula n’amaliriza ng’anfudde kisiimuula.

Nze Ramuzey Ssemakula nga mbeera Najjanankumbi. Nakula ne bazadde bange e Jinja era maama yali musuubuzi mu Owino. Eno gye nnalabira omuvubuka eyali atunda engoye.

Ebiseera we namusisinkanira nnali mu S1 naye enkolagana yaffe yagenda ekula okutuusa mu 2014 nga mmaze S4 ne nkola enteekateeka okubeera naye.

Nnava e Jinja ne ntadika okubeera ewa jajjange e Nansana ewannyanguyizanga okulaba omulenzi.

Ekiseera kyatuuka ne nsalawo okutandikira ddala okubeera naye nga nange ntunda ngoye.

Nga wayise omwaka, nafuna ddiiru ey'okugenda e Dubai era munnange ne mmulekera bizinensi. Ebintu tebyatambula bulungi e Dubai era namalayo omwaka gumu ne nzira.

Nagenda okudda nga yatunda buli kimu nga olwo abeera ne nnyina e Kibuye wabula nga tafaananika. 
 
Olw'okuba nnali mwagala nnyo, nnakwata ssente zange ez'ekyeyo ne nzimuwa asobole okutetenkanya ne nsalawo okubeera naye ewa nnyina.
 
Obulamu bwaddamu okutambula kyokka tewaayita bbanga ddene nnazaala n'atandika okumpisa obubi ne nsalawo okudda ewa maama era yannyaniriza.
 
Omuvubuka yankubira essimu ng'ansaba okudda kyokka ne mmugamba asooke afune ewuwe.
 
Mu bbanga ttono yantegeeza nga bweyali apangisa e Masajja. Nnalimba mmange nga bwenzizeeyo ewa jajja n'essimu ne ngiggyako okumala omwakamulamba.
 
Twatandika okutetenkanya ffembi nga tukola mu kibuga kyokka nga nfuna okumusingako.
 
Twaddamu ne twezimba naye nga tayagala kukola ate nga yayingiramu n'omuze gw'okunywa.
 
Yakyukira ddala n'atandika okunkuba nga kwotadde n'okwenda. Bino yabikola emirundi nga ngumye kyokka kyampitirirako ekiro ekimu bwe yankuba n'ankasuka wabweru mu nkuba n'enzigwerako.
 
Olwo lwe lunaku lwe nasalawo okumuleka ne mmulekera buli kimu okuggyako obugoye bwange.
 
Ekyasinga okunnuma kwe kumwesiga ne ntuuka okumuwa akasente kange n'amaliriza ng'anfudde kisiimuula.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...