
Ku wiikendi asiiba yeebase ate olw'eggulo n'agenda mu kibuga n'akomawo kiro.
Tayagala kwegatta nga lwe kimutisse nnina kusooka kumuwa ssente.
Ddala ono mukyala oba nnina malaaya mu maka? Mwana wange simanyi lwaki abakyala abamu bwe bakwata ku ssente balowooza nti bamaanyi ku basajja.
Kati abakyala bangi ennaku zino balowooza nti ssente ze zifuga amaka era bayisa bubi abasajja abatalina ssente.
Sigaanye eriyo abasajja nga talina buvunaanyizibwa naye n'ababulina gyebali nga bano omukyala bw'akola n'afuna ku ssente alowooza nti wa kitalo nnyo.
Omukyala okutuuka okukusaba ssente ng'agenda kwegatta naawe tabeera mufumbo wabula akukozesa.Ye ng'omukyala alina okuteesa naawe mulabe bwe mukyusa embeera mu maka gammwe mweyise ng'abafumbo.
Bw'asuula obuvunaanyizibwa bwe ng'omukyala mu maka ani gw'asuubira okubutwala?
Omukyala bwaba yakwanjula nga bakumanyi ewaabwe ensonga zitwale mu bazadde nga osookera ku ssenga wammwe.
Ne bannaddiini nabo basobola okubayamba ku nsonga eno oba abakyala abakulu ku kyalo. Ayinza okuba ng'awabye n'alowooza nti ali waggulu nnyo ku ggwe.