TOP

Gwe nali mpita owange yankubako ekibaati

Added 2nd August 2019

NZE Faluku Koba nga mbeera Kasokoso mu Kampala. Bwe nakulamu nga mpezezza emyaka egyetongola, nasalawo okufunayo omwagalwa nange nfaananeko nga mikwano gyange abalala be nali ndaba ne mbeegomba nga balina abaagalwa.

Nasalawo okwogereza omwana muwala eyali yanyirira okuzaama.

Ekyannyamba bwe namutuukirira teyankaluubiriza era n'andaga nti ekirowoozo kyange akyagadde ng'era takirinaamu buzibu.

Nayogeranga n'omuwala ono nga tunyumirwa era ebbanga gye lyagenda litambula ne tufuukira ddala baagalana ng'oli bw'atusanga akirabirawo nti tuli mu mukwano.

Ekiseera kyatuuka n'entandika okwekengera omuwala ono naye ne sisooka kumwatulira kyokka nga mu mutima gwange nninamu ekirowoozo nti yandiba ng'alina omuntu omulala gw'angattikako.

Nga bwe bagamba nti ennaku z'omubbi ziba 40, ne ku muwala ono bwe kyali kuba olumu mba ntambula, ne mmusanga ng'aliko omuntu gw'ayimiridde naye ku kkubo nga banyumya, nga bwe beesesaasesa mu ngeri erumya.

Mu kusooka nze omuwala ono nali simulabye naye nga bwekiri nti ekifaananyi ky'omuntu gw'omanyi tekibula, namala ne mmutegeera. Mu bukkakkamu, nabayitako kkuutwe.

Omuwala ono bwe yamanya nti mmulabye ne yeebuzaabuza era okuva kw'olwo teyatawaana kuddamu kunkubira okutuusa ku ssaawa ya leero. Nange saamunyega era twayawukana nga baabigwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Biden ng’ateeka omukono ku gamu ku mateeka amapya ge yayisizza nga yaakamala okulayira.

BIDEN: Ebikyuse mu ssaawa 1...

DONALD Trump yatunuulidde amaka g'Obwapulezidenti aga White House nga tegalekeka kyokka ng'akadde kamuweddeko n'akwata...

Putin owa Russia

Abakulembeze bayozaayozezza...

ABAKULEMBEZE b'amawanga bayozaayozezza Pulezidenti Museveni olw'okuddamu okulondebwa ku bwapulezidenti bwa Uganda....

Pulezidenti Museveni ng’ayogera eri ab’e Lyantonde eggulo.

Pulezidenti Museveni avudde...

PULEZIDENTI Museveni akomeddewo mu maanyi okuva mu makaage e Rwakitura gy'abadde okuva lwe yawangula akalulu okujja...

Erias Lukwago ng’amenyeka omuziki oluvannyuma lw’okuwangula obwa  Loodi Mmeeya ekisanja ekyokusatu.

Ebyewuunyisa mu kalulu ka K...

OKULONDA kwa Loodi Mmeeya ne bakkansala mu Kampala kubaddemu ebyewuunyisa, abalonzi bwe baalonze FDC Erias Lukwago)...

Irene Nanyanzi Mwebe owa NRM yawangudde Lukaya TC.

Aba NUP beefuze obwakkansala

OKULONDA bakkansala ab'ekibiina kya NUP baakwefuze. E Mukono mu magombolola gonna agakola disitulikiti eno okuli...