TOP

Ebbuba ly'olina lijja kulemesa balo omulimu

Added 7th August 2019

Bw’ogenda ku saluuni n’osalawo okutuula awo nga buli mukyala oba omuwala akola n’omwami wo oba gw’asekera olowooza nti amwagala kirabika bubi.

Nakalembe, ogenda kulemesa omwami waffe okukola. Olina ebubba lingi era tamanyi kyakukola. Omwami waffe akola n'abakyala bangi ate  alina okukolagana nabo kubanga bakasitoma be.

Naye ggwe ate bw'ogenda ku saluuni n'osalawo okutuula awo nga buli mukyala oba omuwala akola n'omwami wo oba gw'asekera olowooza nti amwagala kirabika bubi. Kubanga abakyala oba abawala bagenda kumuvaako olw'embeera zo.

Omwami waffe yahhambye nti walwanira ku mulimu si mulundi gumu si ebiri naye kumpi buli luvannyuma lwa myezi esatu. Ekirala ovuma abakyala aboogera ne balo era oluusi ne weewera okubakuba.

Mwana wange okimanyi bulungi nti omwami waffe akoze nnyo okutuusa saluuni ye ku mutindo ogwo. Buli mukyala ayagala bamukolere mu saluuni ye olw'obukugu bw'alina era n'embeera gy'ayisaamu bakasitoma.

Naye kati bakasitoma bwe banadduka tugenda kulya wa? Sigaanyi omwami waffe alabika bulungi era nsuubira nti buli mukyala amwegomba, naye tekitegeeza nti abaagala. Ate alina okwogera nabo bulungi era n'okubasikiriza okukozesa saluuni ye kubanga saluuni nnyingi ze basobola okugendamu ne bafuna kye baagala.

Naye bwe basalawo okugenda mu saluuni ye, kitegeeza abayisa bulungi. Weesiimye otuula waka n'olinda ssente naye abakola ssente bazikolera mu bugubi.

Okuvuganya kungi era buli omu alina okukola okulaba nga kasitoma takyusa n'agenda awalala kubanga bw'agenda tasobola kudda.
Kati mwana wange oba tomanyi obuggya obungi bwonoona amaka, kubanga munno

Bw'atandika okulowooza nti tomwesiga asobola n'okutandika okukola ekyo ky'omusuubiriza.

N'ekirala oba weetaaga obuyambi ku nsonga eno tubuulire. Abakyala oba abasajja ababeera n'ebbuba eringi ebiseera ebisinga basobola n'okukola obulabe ku bantu be baagala, ng'okubaloga, okubatta, okubavuma n'ebirala. Njagala twogere ku nsonga eno. Kubanga w'otuuse olabika toli wekka, olina ekikutawaanya ku bwongo. Nkubiraako twogere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...