TOP

Omusajja ansuddewo

Added 7th August 2019

Omwami wange yampasa nnina emyaka 19, ne tukola okutuusa lwe twagula ekibanja ne poloti ku kibuga. Ku kibuga twazimba ennyumba kubanga abaana basoma nga tulina kubeera mu kibuga.

Omwami wange yampasa nnina emyaka 19, ne tukola okutuusa lwe twagula ekibanja ne poloti ku kibuga. Ku kibuga twazimba ennyumba kubanga abaana basoma nga tulina kubeera mu kibuga.

Ate ekibanja twateekako emmwaanyi era zibadde ziyamba mu kusomesa abaana. Omwaka guno omwami wange yahhamba nti tagenda kubeera nange, afunye omukyala omulala.

Naye  poloti mu kibuga n'ekibanja bya baana baffe abataano. Okuhhamba bino yaleeta mugandawe ne ssenga wange awaka. Omwami wange mwagala naye simanyi kyamutuukako. Sigaanyi yankwatira mu bwenzi naye teyandituuse awo. Nkole ntya okumuzza? Mpulira nti poloti yagikyusa n'agiteeka mu mannya gange n'abaana era n'ekibanja. Nkoze kyonna ekisoboka agaanyi, agamba nti tasobola kubeera na mukazi mwenzi.

Mwana wange olabye naye mu butuufu wasobya. Abasajja abamu basobola okugumiikiriza omukyala omwenzi naye abasinga tebakisobola. Kati obwenzi bwe wakola munno bwamutuusa wala n'asalawo okukuleka afune omukyala omulala. Omwami ono nze ndaba nga takukoze bubi. Poloti mu kibuga eri mu mannya go ate n'ekibanja. Akulekedde obugagga bwe mwakola mwembi osobole okukuza abaana nga tebali mu muzigo ate oggyemu ssente okubalabirira. Abasajja abamu bw'ayawukana n'omukyala asobola okumugoba mu bintu byonna ate nga baabikola bonna n'ateekamu omukyala omulala gwe n'akuleka ng'oli awo tolina w'otandikira. Ekirala akussizzaamu ekitiibwa ne mwawukana ng'abantu bo weebali era n'abantu be nga tayagala weekwase nsonga yonna. Omusajja ono mu butuufu muzira era tayagala baana be kubonaabona. Baana bange bulijjo mbagamba nti okwenda kubi mu bufumbo. Abasajja okwenda kwabwe kirabika kwamanyiirwa, naye abasajja abasinga tebasobola kugumiikiriza mukyala mwenzi. Bw'oba oyagala okukuuma obufumbo olina okwewala okwenda kubanga gwe gumu ku mize egitagumiikirizika basajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...