TOP

Muwala wange baamuloga?

Added 12th August 2019

Muwala wange wa myaka 24, naye talina bulamu era talina musajja, tava waka. Olowooza baamukoga?

Nnina muwala wange alina emyaka 24, naye bwe nnamutwalako ewa kitaawe nga wa myaka 18, yakyuka mu mbeera. Ekisooka yali asoma bulungi naye okusoma ne kufa era kati asoma kkoosi. Ekirala talina bulamu kubanga talina musajja era tava waka. Ssenga omwana wange tebaamuloga?

Okusookera ddala, abazadde abakyala mbasaba mugezeeko okubeera n'abaana bammwe. Ennaku zino kizibu okusanga omukyala asobola okulabirira omwana wa muggya we. Abakyala abasinga tebalina budde kulabirira abaana abaabwe. Kati ate ggwe bw'omuteekako obuzibu obw'omwana atali wuwe.

N'ekirala omwana omukulu tabeera mwangu ate oluusi n'omukyala ayinza okumuteekako akazito kubanga amulaba nga muggya we. Kati simanyi lwaki watwala omwana ono ng'akuze. 

Bamaama abo abatazaala baana abasinga ennaku zino bazibu. Omwana omukulu ng'oyo ayinza  'okumutta' ng'akozesa ebigambo ebisongovu nga 'Oli musiru, tolina ky'ogenda kubeera,olina ekisiraani, ne by'okola otya era togenda kuvaamu' n'ebirala ebiringa ebyo.

 Ebigambo ng'ebyo binafuya omuntu yenna okuggyako omuntu oyo bw'abeera ng'alina omutima omugumu ddala. 

Omwana bw'akulira mu mbeera eyo ate nga n'amugambako si y'amuzaala olaba nga buzibu bwa maanyi ate taata w'omwana ssinga naye ayongereza okwo omwana n'afiira ddala. 

Olina okukimanya nti n'abakyala balina engeri gye banafuya abasajja oba abaami kubanga tebabeera waka.

Omukyala n'ayogera buli kibi ky'alaba ku mwana ate omwami naye olw'okuba tebeera waka, naye n'akitwala era ekivamau  kuvuma mwana.

Okusoma obulungi kulina okufa olw'ebigambo. Obutabeera na musajja ku myaka gy'alina sikiraba ng'ensonga kubanga ennaku zino abawala bangi abatalina basajja kubanga abasajja batono.

Sigaanyi n'abasajja abasobola okufuna obuzibu okukwana omuwala ng'ono kubanga abeera n'emigugu gy'asitudde era weesanga ng'abeera mukambwe tayagala kwesembereza abantu.

Kale omusajja oba omuvubuka n'amwewala. Bw'oba olaba ng'omwana wo yakyuka kiba kirungi n'ofuna abudaabuda abantu n'ayogera naye n'amanya lwaki ali mu mbeera eyo. Naye ndowooza nti muggya wo ye yamunafuya obwongo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...