TOP

Omukazi atuuka ku ntikko mu ddakiika 13

Added 13th August 2019

OMUKAZI kimutwalira eddakiika 13 n’obutikitiki 25, okutuuka mu ntikko y’omukwano. So ng’omusajja yeetaaga eddakiika mukaaga zokka okumalamu akagoba.

OMUKAZI kimutwalira eddakiika 13 n'obutikitiki 25, okutuuka mu ntikko y'omukwano. So ng'omusajja yeetaaga eddakiika  mukaaga zokka okumalamu akagoba. Bino byazuuliddwa mu kunoonyereza okwakoleddwa e Bungereza gye buvuddeko.

Ku bakazi abaakoleddwaako okunoonyereza, omu ku mukaaga yalaze nga bw'atatuukangako ku ntikko ya mukwano, so ng'abalala baagambye nti ebbanga lye batwala okumalamu akagoba liri wakati w'eddakiika ttaano ne 21.

Ku bakazi 10 abeetabye mu kunoonyereza, mwenda ku bbo baalaze nti kibanguyira okumalamu akagoba nga be bali mu mitambo. Okunoonyereza kuno kwakoleddwa wakati wa September ne October 2017.

Abakazi 645 okuva mu mawanga 21 be beetabye mu kunoonyereza kuno era nga bonna bafumbo. Baabadde batemera mu myaka 30 egy'obukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...