TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bba wa mulamu wange anneesibyeko , nkole ntya !

Bba wa mulamu wange anneesibyeko , nkole ntya !

Added 13th August 2019

Omwami wange yagenda kusoma naye omwami wa mulamu wange ankwana. Nnina ennugu ku mulamu wange ono kubanga yakwaniranga omwami wange abawala. Ssenga mukkirize kubanga nange mpulira njagala okubeerako n’omusajja. Omwami ono ankwanidde ebbanga nga n’omwami wange akyaliwo.

Ssenga nsobedwa. Abantu bangi baleetawo embeera eno naye nga mu butuufu si kirungi. Omuntu yenna bw'akukola obubi olina okugezaako obutamukola bubi, kubanga kino bw'okikola naawe ofaanana ga ye.

Kati mwana wange ekirala oli mukyala mufumbo era omwami wo gw'olina okwagala yekka kati okwagala omusajja omulala olaba nga kireeta obuzibu mu maka?

Ekya mulamu wo okukwanira omwami wo abakyala ekyo kimanyidwa era balamu bakikola nnyo.

Naye tolina kwonoona bufumbo bwo kubanga omwami wa mulamu wo tasobola kukufuula mukyala era nsuubira nti naye ayagala kukwagalako bwagazi. Naye mwewuunya okukwana mukyala wa mukoddomi we.

Nze ndaba nga kisobola okuleeta obuzibu mu ffmire Kale mwana wange oba akukwana akukwane naye tomuwa ssuubi nti osobola okumwagala era nsuubira okulemerako amanyi nti naawe oli munafu mu mbeera gy'omulaga ng'asobola okukuwangula. Ate omusajja okukwana tekitegeeza nti aba akwagala.

Abasajja bangi bakwana naye abalina omukwano batono ddala. Era ennaku zino bangi bakwana naye nga bwagazi bwe bubatawaanya era bw'amala okwegatta naawe takuddira.

Abawala bangi ennaku zino bagamba nti bangi babakwana naye obufumbo bwagaana.

Kati omusajja bw'amanya nti oli mwangu era amanya nti ne ku basajja abalala bw'ogenda okubeera, kati olina okukyewala. Noolwekyo mwana wange toleeta buzibu mu famire ate sigala ng'oli mukyala mufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...