TOP

Omukazi yadduka n'olubuto

Added 14th August 2019

NZE Siraje Isabirye, mbeera Bweyogerere Kakajjo era ndi musuubuzi wa birime mu katale e Nakawa.

Nafuna omukyala omusawo okuva e Busia ne mmuwasa era ne twesuubiza okwekulaakulanya n'okubeera ffembi ebbanga lyonna wadde nga twali tetukoze mikolo mitongole gyonna.

Omukyala nnamala naye omwaka gumu n'afuna olubuto era lwali lwakaweza emyezi musanvu n'atabuka n'atandika okunnyombesanga buli bwe naddanga awaka.

Lumu nagenda mu katale okukola kyokka kyambuukako bwe naddayo olweggulo ng'ennyumba yonna nkalu.

Baliraanwa ne bahhamba nti yaleeta emmotoka n'asiba ebintu. Okuva olwo siddangamu kumulabako kuba simanyi gye yaddukira.

Yankubirako omulundi gumu ng'asaba obuyambi era n'antegeeza nti yazaala mwana  mulenzi.

Nnamuweereza emitwalo etaano ku ssimu gye yankubirako kyokka bwe nnaddamu okugikubako nga teriiko n'okutuusa kati.

Ekisinga okunnuma nti tewaaliwo nsonga ya maanyi wabula yatabuka lumu n'atandika okugamba nti simwagala kyokka nga buli kimu kyali kitambula bulungi.

Nasooka ne ndowooza nti lubuto lwe lumutawaanya era nga mmanyi nti anaatereera ng'amaze okuzaala.

Ekisinga okunnuma kwe kuba nti omwana wange simulabangako kyokka omutima gunnuma.

Waliwo oluusi lwe ndowooza okufuna omukazi omulala kyokka olulala ne hhamba oba nnindeko nga nsuubira nti anaakomawo.

Kye ntya kwe kufuna omukazi omulala ate oli n'akomawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...