TOP

Okukuba abakazi kwadiba

Added 19th August 2019

Omusajja okukuba mukaziwe kya bukopi era teri musajja ategeera akikola. Ate okumukuba olw'okugaana okwegatta naawe, kyokka ng'okimanyi nti akyali nnakawere kyongera okulaga bw'olina effugabbi!

Muwala waffe yazzeeyo ewaabwe naye simanyi oba omanyi ensonga kubanga yakugamba naye tewategeera. Muwala waffe wamanya nti teyazaala bulungi era baamugamba nti alina okumala akaseera nga teyeegatta.
Alina okuddayo mu ddwaaliro ne bamukebera ne balaba oba ali bulungi asobole okuddamu okwegatta. Ensonga eyo yagikugamba ng'avudde mu ddwaaliro naye ndowooza wali omanyi nti alimba.

Mu busungu obungi muwala waffe obadde omukuba ng'ensonga ya kukumma kaboozi. Mwana wange ggwe tolaba ng'ekyo kiswaza nnyo. Gwe tosobola kugendera ku mateeka g'abasawo oba omwagala ng'afudde.
Ekirala oba wasobola okubeerawo omwaka mulamba ng'agenze okusoma lwaki kino tokigumiikiriza?
Abakyala nga bamaze okuzaala alina okuddayo okulaba omusawo oluvannyuma lwa wiiki nga ssatu. Olwo omukyala yenna asobola okuddamu okwegatta naddala ng'azadde bulungi.
Gwe kubanga toli mukyala, tomanyi buzibu bwe bafuna nga bazaala. Okuzaala obeera wakati mu kufa, naye munno bw'azaala ne bamugamba alindeko okwegatta kitegeeza abasawo bakiraba nga kyetaagisa okulindako.Ate bw'okuba nakawere mwana wange sikutegeera.
Okukuba abakyala nga kwadiba dda! Omusajja akuba amukazi ennaku zino abeera akoze kivve.
Kaakati ssinga obadde ggwe owulira otya nga bakukubye kyokka nga bakukubidde nsonga ya kwegatta gye baakugaana?
Embeera ey'effugabbi y'enobya abakyala ennaku zino. Omukyala naye muntu nga ggwe. Laba kale bw'otuswaza! Nakawere naye bamukuba? Olina okusaba ekisonyiwo. Tugenda ffenna ku Ssande twogere ne bakulu bannaffe ku nsonga eno. Naye bo bagamba bw'oba ojja kukuba omwana waabwe, waakiri ajja kusigala ewaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abavubuka ba Yellow Power.

Aba Yellow Power baagala Ka...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina...

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Busiro ne Bulemeezi ziri ku...

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju...

Abawagizi ba Pulezidenti Museveni mu Kawempe nga bajaganya ku Akamwesi Gardens e Kyebando.

Bannange mukulike bbookisi

Bannange akalulu akaakubiddwa ku Lwokusatu tekaabadde kangu era abaakawangudde baba basaana kuyozaayozebwa nnyo....

Maama Kisanja (ku ddyo)ng’awaga oluvannyuma ly’okuwangula obululu.

'Maama Kisanja' yeebazizza ...

PENINAH Kabingani Busingye ‘Maama Kisanja' 77, alondeddwa okuba omubaka w'abakadde ba Buganda mu Palamenti asookedde...

Muwadda Nkunyingi.

Ababaka abapya abagenda oku...

OKULONDA kw'ababaka ba Palamenti eya 11 kuleese abapya bangi omujjidde n'abamu ku bantu abalina ekitone ky'okwogera...