TOP

Okukuba abakazi kwadiba dda

Added 20th August 2019

MUWALA waffe yazzeeyo ewaabwe naye simanyi oba omanyi ensonga kubanga yakugamba naye tewategeera.

MUWALA waffe yazzeeyo ewaabwe naye simanyi oba omanyi ensonga kubanga
yakugamba naye tewategeera.
 
Muwala waffe wamanya nti teyazaala bulungi era baamugamba nti alina okumala akaseera nga teyeegatta.
 
Alina okuddayo mu ddwaaliro ne bamukebera ne balaba oba ali bulungi asobole okuddamu okwegatta. Ensonga eyo yagikugamba ng'avudde mu ddwaaliro naye ndowooza wali omanyi nti alimba.
 
Mu busungu obungi muwala waffe obadde omukuba ng'ensonga ya kukumma kaboozi. Mwana wange ggwe tolaba ng'ekyo kiswaza nnyo.
 
Gwe tosobola kugendera ku mateeka g'abasawo oba omwagala ng'afudde.
 
Ekirala oba wasobola okubeerawo omwaka mulamba ng'agenze okusoma lwaki kino  okigumiikiriza? Abakyala nga bamaze okuzaala alina okuddayo okulaba omusawo oluvannyuma lwa wiiki nga ssatu.
 
Olwo omukyala yenna asobola okuddamu okwegatta naddala ng'azadde bulungi. 
Gwe kubanga toli mukyala, tomanyi buzibu bwe bafuna nga bazaala.
 
Okuzaala obeera wakati mu kufa, naye munno bw'azaala ne bamugamba alindeko okwegatta kitegeeza abasawo bakiraba nga kyetaagisa okulindako.
 
Ate bw'okuba nakawere mwana wange sikutegeera.
 
Okukuba abakyala nga kwadiba dda! Omusajja akuba amukazi ennaku zino
abeera akoze kivve.
 
Kaakati ssinga obadde ggwe owulira otya nga bakukubye kyokka nga bakukubidde nsonga ya kwegatta gye baakugaana? Embeera ey'effugabbi y'enobya abakyala ennaku zino.
 
Omukyala naye muntu nga ggwe. Laba kale bw'otuswaza! Nakawere
naye bamukuba? Olina okusaba ekisonyiwo.
 
Tugenda ffenna ku Ssande twogere ne bakulu bannaffe ku nsonga eno. Naye bo bagamba bw'oba ojja kukuba omwana waabwe, waakiri ajja kusigala ewaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...