TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Lwaki weesiba ku kwongera okuzaala abaana abalala?

Lwaki weesiba ku kwongera okuzaala abaana abalala?

Added 20th August 2019

Omukyala yenna naddala ennaku zino azaala ng’atunuulira muggya we aba talowoozezza.

OMWAMI waffe yaηηambye nti akooye okuzaala naye gwe okyayagala.
Mulina abaana musanvu kyokka abaana basatu obazaalidde ku kiso. Ggwe ogamba nti ssinga okoma okuzaala, muggya wo agenda kwongera okuzaala akusinge.
 
Mwana wange okusookera ddala ebubba toliteeka ku bulamu bwo. Abaana b'olina bamala. N'ekirala oba obadde tokimayi kirungi omukyala n'akoma ku baana nga
bataano. Buli lw'ozaala ennyo, nnabaana atandika okukoowa ate naawe ng'omukyala okaddiwa.
 
Edda bannyaffe baazaalanga abaana bangi kubanga baali bakyala abalamu obulungi nga balya bulungi ate nga bakozi ekitaliwo ennaku zino.
 
Ekirala okuzaalira ku kiso olina kukoma ku baana bana, ate n'ekirala mwana wange owezezza emyaka 36 kitegeeza nti emikisa gy'okufuna ebizibu ng'ozaala mingi ddala. Kaati simanyi oba oyagala kufa ng'ozaala.
 
N'ekirala muggyawo muleke oba azaala bangi ebyo bibye. Kubanga oli wakati mu kufa.
 
Omukyala yenna naddala ennaku zino azaala ng'atunuulira muggya we aba talowoozezza. Ennaku zino abasajja abamu obuvunaanyizibwa butono, abalala ayagala okubeera
n'obuvunaanyizibwa n'alabirira abaana be bulungi naye obusobozi ne bugaana.
 
Bw'ozaala abangi weesanga nti ggwe ng'omukyala weeteekako omugugu omunene ogw'abaana abo. Kkiriza omwami waffe ky'agamba kuba tetwagala kukufi irwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.