TOP

Buli ansuubiza okumpasa andekawo

Added 2nd September 2019

BANNANGE nze ensonga z’omukwano zantabukako. Abasajja bammenye nnyo omutima, buli gwe nfuna andekawo awatali nsonga era obuzibu bwe nnina sibumanyi.

Nze Irene Ayaado 35, mbeera Makerere Kavule mu muluka gw'e Kawempe.

Twasisinkana ne baze eyasooka mu 2008 nga tutambuza bulungi omukwano gwaffe nga tutegeka na kukyala mu bazadde.

Tuba tukyali mu nteekateeka omusajja n'akwatamu ebintu bye n'andeka mu nnyumba nga tetuyombye.

N'okutuusa kati siddangamu kumulaba era n'ensonga eyamutwala saagimanya.

Nga wayise ebbanga, nafuna omusajja omulala gwe nali nsuubira nti anannaazaako ennaku eyasooka gye yampisaamu n'okunzigyako ekisiraani kuba abantu bahhamba nti omusajja bw'akulekawo nga mubadde mutegeka kugenda mu bazadde kiba kisiraani. Twasisinkana mu 2015 nga ntunda ngoye.

Yali omu ku bakasitoma bange era buli lunaku yakakasanga nti ajjako we natundiranga engoye ne bwe yabanga si waakugula waakiri ng'alamuza.

Nga wayise ebbanga, yanjogereza ne mmukkirizza era ne tutandika omukwano gwaffe mu maanyi nga n'abatulaba batwegomba.

Ekiseera kyatuuka baze n'ansaba ntandike okubeera naye era olw'omukwano gwe nalina nakkiriza. Nga wayise ekiseera, nafuna olubuto era n'alukkiriza.

Yandabirira okutuusa lwe nazaala era n'ansaba mutwale mu bakadde mmwanjule. Saalwa nga nkola kye yali ansabye era enteekateeka ne zikolebwa, n'olunaku ne lukkaanyizibwako.

Nga wabula ennaku ntono okutuuka ku lunaku mulindwa, ono naye yakwatamu ebintu bye nagenda ng'eyasooka bwe yakola.

Namubuuza obuzibu kwe buvudde neetonde naye nga mukambwe ebitagambika bw'atyo n'andeka mu nnyumba n'omwana.

Landiroodi yatugoba mu nnyumba kuba nali sikyasobola kugisasulira ate nga n'ekyokulya sikirina.

Embeera eno teyayawukana na yasooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...