TOP

Buli muwala gwe ndaba mmwegomba

Added 7th September 2019

NNINA emyaka 23. Ssenga neenyigirako mu muze gw’okwemazisa nga nkyali muto naye kati bwe neegatta n’omuwala omulundi ogusooka siddamu kufuna bwagazi bwa kwegatta naye omulundi omulala. Ekisinga okunneeraliikiriza kwe kuba nti oluusi mbeera njagala kwegatta na buli mukyala gwe ndaba. Nnina kizibu ki ssenga?

MWANA wange, okusookera ddala tolina kizibu kyonna. Ku myaka gy'olina obeera n'obwagazi bungi era bw'olaba omuwala nga mulungi oba oyagala kwegatta naye era y'embeera eyo gy'ogamba.

Naye okwegatta n'omuntu tekitegeeza nti omwagala. Obeera n'obwagazi naye nga tolina mukwano gy'ali.

Embeera eno ebeera nnyo mu bavubuka era nga ya butonde. Naye bw'ogenda okula, sigaanye weegomba naye ate oyinza obutayagala kwegatta na muntu oyo newankubadde mu birowoozo abeeramu. Kati olina okufuga obwongo.

Bw'olaba omuwala n'omwegomba tekitegeeza nti olina kwegatta naye kuba ggwe ky'oba oyagala kwegatta bwe kiggwa tosobola kubeera na bwagazi nate.

Nkwegayiridde endowooza y'okwagala okwegatta na buli mukyala gw'olaba gyesonyiwe kubanga esobola okukutuusa mu buzibu.

Naye okwemazisa si kwe kwaleeta embeera eno wabula butonde ssaako n'obutafuga bwongo bwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...