TOP

Omukyala kaalaala alumya omutima

Added 14th September 2019

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala ne mukyala wange saamulumyako lunaku lwonna. Nze Milton Wachidisa, 28, mbeera Kawempe -Kiganda.

Ng'omuvubuka yenna omulala nange olwavumbavumbamu, nasalawo okufunayo munnange tutandike obulamu.

Nafuna omuwala eyali omulungi kaalaala era nga bw'omutunulako naawe okkiriza.

Twabeera ne nnalulungi wange ono okumala akaseera akawerako ng'omukwano gutusaza mu kabu era ng'amwagerako ekibi aba alina kyanjagaza.

Olw'omukwano omungi gwe twalimu ne mwana muwala, namusaba mutwalire ddala awaka afumbe naye kye yakkiriza olw'omukwano naye gwe yalina gyendi.

Bwe nnamala okumussa mu maka ne mmanya obuwanguzi mbutuuseeko era nfuuse musajja ajjudde.

Waayita akaseera katono ddala n'ampa ezzadde olwo n'omukwano gwaffe ne gweyongera okutinta.

Naye wakati mu ssanyu ate ne bannakigwanyizi we baayingirirawo ne bakyusa munnange ebirowoozo n'aba nga takyatuula waka anti nga bw'omuleka awaka ne weewungulako ogenda okudda nga talabikako.

Enfunda nnyingi naddanga awaka ng'omukyala taliiwo nga n'ekisinga okuluma kwe kunkonkonanga amatumbibudde ng'ava mu biduula ne be yayitanga mikwano gye egyamusigulanga.

Nagezaako nga bwe nsobola okwogera ne munnange okulaba ng'akyusa mu mpisa naye ng'emikwano gimuwaga era nga bwe bamubuuza nti akugaana atya?

Olwasembayo twakubagana bubi nnyo okukkakkana ng'amaka agasuddewo era kati abakyala ndaba balabe.

Nsaba yenna asoma emboozi yange ampe ku magezi ndabe bwe nnyinza okuyita mu kusoomoozebwa kwe ndimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...