TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okukkiririza mu Katonda kizza laavu yaffe bupya

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu yaffe bupya

Added 21st September 2019

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera ng’agenze mu bufumbo kubanga kimanyiddwa nti obufumbo kye kitiibwa ky’omukyala.

Nze Rehemah Nakyewa nga mbeera Mityana ku Park-Villa. Bwe nnali nkyasoma, nafuna omuvubuka eyandya obwongo era nga nsaba Katonda mmalirize okusoma nga tebannamunzibako.

Okumanya nga Katonda akola ebikulu, okusoma tekwalwa nga nakwo kuggwa era nagenda okumaliriza nga ne munnange yanninda dda.

Okumanya nga twasiimagana, ne bwe yamanya nti nkyalina okumaliriza okusoma yasalawo okuhhumiikiriza kubanga naye yali awulira ng'omutima gwe nze ngulimu.

Ekisinga okunjagaza omwami wange ono, y'engeri gy'andabiriramu ng'ampa buli kye neetaaga ate mu budde.

Ne bw'aba nga talina ssente oba nga ziganyi, waakiri akunnyonnyola n'omanya embeera bw'eri naye era ng'abeera n'essuubi nti olwaleero bwe kiba nga kigaanyi ate enkya ayinza okukisobola.

Okumanya omwami wange ono nnamwagala, bwaba tanadda waka omutima gubeera mu kkubo munnange gye yagenze.

Ekisinga obukulu mu mukwano gwaffe kwe kuba nga buli omu ku ffe atya Katonda ate nga nkimanyi bulungi nti ekintu kyonna ekirimu Katonda kibeeramu omukisa era kitera okuwangaala.

Buli lunaku olukya nsabira omwami wange gy'abeera agenze ku mirimu afuneyo ekyo ky'abeera asinga okwagala naddala ssente olwo naffe tusobole okwezimba tubeereko mu bulamu obweyagaza okusinga bwe tulimu kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo