TOP

Omukyala yansuulira omwana n'agenda e Juba

Added 5th October 2019

KABEERA kaseera ka ssanyu omuntu yenna okuzaala omwana kubanga kye kiraga obukulu bw’omuntu n’obuvunaanyizibwa. Nze Joseph Bigirwa, mbeera Bulenga.

Nafuna omukyala eyali anyirira okuzaama era ne nfuba okulaba nga waakiri mmuzaalamu omwana kye nalowooza nti bwe mba muzaddemu nja kuba mmuwangudde naye si bwe kyali.

Omukyala ono alinga eyali agamba nti olubuto lwe lwali lumusibye ewange era olwamala okuluzaala n'akola ekintu ekitakoleka muntu wa mutima gwa kizadde kubanga nnali ndi awo ng'ahhamba nti ayagala kugenda Juba kutandika kukola.

Nasooka kulowooza nti osanga yali asaaga kuba yali akyali na nnakawere wabula saamanya nti waliwo eyali amulidde omutima ng'ali Juba.

Omukyala ono yansuulira omwana nga simanyi na wakutandikira era nange ne mmutwala ewa Ssentebe w'ekyalo ne ntwalayo okwemulugunya kwange era n'anzikiriza okubeera n'omwana ono.

Omwana namutwala ewa jjajja azaala taata kuba nnali nsinga kubeera ku mulimu era ono ne Katonda be bannyambako okulabirira omwana era n'avaamu nga kati yatandika n'okusoma ng'ali mu S5 kati.

Ebyo wadde byali bityo, ekyanneewuunyisa ye mukyala ono okunkubira essimu ng'agamba nti ayagala kudda ewange afumbe ng'ate nawulira nti yali afunye omusajja omulala e Juba eyamupaaza. Okuva olwo, nnawummula eby'okuwasa okutuusa lwe ndifuna omutuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...