TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze yatunda eby'omu nju n'ansindika mu kyalo

Baze yatunda eby'omu nju n'ansindika mu kyalo

Added 12th October 2019

OMUSAJJA gwe nnazaalamu omwana andabizza ennaku ne ntuuka n’okwevuma buli musajja gwe ndaba. Nze Savior Gumushabe, mbeera Lugoba.

Omusajja ono gwe njogerako yansanga ku mulimu gye nnali nkolera n'atandika okuntokota.

Ono yasooka kubeera kasitoma wange ku dduuka we nnali nkolera era wano we twatandikira.

Olw'okuba yali alabika bulungi era ng'alabika okubeera owoobuvunaanyizibwa, namukkiriza.

Twatandika okweraga omukwano nga kye njoya ky'aleeta era ekyavaamu kwali kunsaba kumufumbirwa. Nakkiririzaawo kyokka olw'okuba buli kimu yali akimpa, yagaana okuddamu okukola era ne ntuula awaka nga nange sikirabamu buzibu.

Nga wayise emyezi nga etaano, nafuna olubuto era ne tusanyuka naye kye saamanya nti, landiroodi waffe n'abamu ku baliraanwa baffe omukwano gwaffe gwali gubanyiiza.

Waliwo abamu abaalumba baze ne bamugamba nti nnina omusajja omulala era nti buli lw'ava awaka nga nange ng'enda ew'omusajja oyo.

Baamugamba bingi naye baze teyabihhamba.

Olubuto bwe lwaweza emyezi ena, baze nnamusaba hhendeko ewaffe nfune ku ddagala n'ahhana era wano we yatandikira okukyuka nga buli kimu kimuyombya.

Lwakya lumu n'ampa 5,000/- n'andagira hhende ngule emmere mu katale era ne hhenda naye ng'akatale kali wala ne we twali tubeera.

Wabula nagenda okudda awaka, namusanga atudde ku lubalaza naye ng'ennyumba nkalu.

Bwe namubuuza ebintu gy'abitadde n'agamba nti yali abitunze afune ssente ezintwala ewaffe mu kyalo kubanga yankoowa dda.

Nasooka ne ndowooza nti osanga yali asaaga naye nagenda okulaba ng'ankwasa 110,000/- nti nzeyambise okugula engoye zange mmuviire.

Nnayingira mu nju ne nnondamu engoye zange ezaali zimansiddwa wansi ne nzira ewaffe.

Buli lwe nagezangako okukuba ku ssimu ye nga tagikwata ate nga n'olumu tebaako ne nsalawo okugyesonyiwa okumala akaseera. Bwe nnamala okuzaala, naddamu ne mmukubira essimu n'agikwata n'ahhamba nga bw'atali mu Uganda nti yagenda bweru.

Mbadde mu mbeera embi n'omwana wange nga kati mulwadde yafuna ebizimba naye bwe mugamba agamba nti nnoonye taata w'omwana ye si wuwe era nnerabire omukwano gwe yalina gyendi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeero eyakwatiddwa ne mukyala we.

Bakutte bana abatunda eddag...

ABANTU 4 okuli n’omusawo w'ebisolo bakwatiddwa mu kikwekweto ky’okufuuza abatunda eddagala ly’ebisolo ery'ebicupuli...

Omuserikale ng'ayingiza Mabaale  mu kaduukulu.

Eyateeze muliraanwa n'amute...

POLIISI y’e Mpigi ekutte omutuuze n’emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n’amutema ejjambiya ku nsingo n’ekigendererwa...

Asooka ku kkono ye mumyuka w'akulira yunivasite ya UCU, Prof. Aaron  Mushengyezi ate asooka (ku ddyo) ye Ndyanabo.

Vision Group enywezezza enk...

YUNIVASITE ya Uganda Christian University eyongedde okunyweza enkolagana yaayo ne Vision Group. Enkolagana eno...

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...