TOP

Abaana bwe baalwala baze n'atukyawa

Added 19th October 2019

ABAANA be tuzadde n’omusajja gwe nnasuubira okunkuuma mu buli ngeri bw’akizudde nga balwadde ba siikossero ate nga nange omutima mulwadde n’ansuulawo. Nze Lydia Nambuusi 27, mbeera Katooke mu divizini y’e Kawempe.

Baze omuvuzi wa bboodabbooda era okunkwana yansanga mbeera mu maka ga bazadde bange. Obufumbo twabutandika mu 2011 bwe yapangisa omuzigo mwe twazaalira omwana waffe omulenzi eyasooka mu 2012.

Omwana ono yalwalalwalanga era nga tumujjnjaba. Mu 2017 nazaala omwana omuwala kyokka naye n'alwala obulwadde obutaalina njawulo na bwa mukulu we.

Wano nange nnali ntandise okwewuliramu obulwadde ng'entunnunsi zibeera zinkuba kumukumu.

Mu ddwaaliro e Mulago abasawo gye bantegeereza nti abaana bombi baali balwadde ba siikossero.

Nze baansindika ku gye bakeberera abalwadde b'emitima era ne bantegeeza ng'omutima bwe gwali omulwadde n'ebisenge by'omutima byagaziwa ate nga n'ekitundu ekimu kyanafuwa.

Bantegeeza mu ddwaaliro nti buli omwana omu bw'alwala, twanguyenga okumutuusa mu ddwaaliro bamukebere obungi bw'omusaayi.

Kino kisasulirwa 10,000/- sso nga n'eddagala omusawo alituwandiikira ne tulyegulira okuva ebweru w'eddwaaliro. Wano baze we yalagira nti ankooye n'alekeraawo n'okusasula ennyumba.

Yandeka mu muzigo nga tambuuulidde ne mbonaaboba n'abaana nga simanyi na gye yalaga kati myezi mukaaga.

Nalaba embeera enkaluubiridde ne hhendako ewa taata e Katooke gye nnamala emyezi esatu.

Bwe yamanya nga mu muzigo nvuddemu n'adda kyokka bwe nnaddayo natandika okumpalana nga ne bwe mubuuza tanziramu wadde okutufaako n'abaana baffe.

Buli luvannyuma lwa myezi mukaaga hhenda e Mulago ne nfuna obujjanjabi bw'omutima ate nagwo okukeberebwa era buli lwe nkeberebwa nsasula 50,000/-.

Abasawo bangamba nti obujjanjabi obwange bwokka ku mutima bwakumalawo 7,000,000/- ze sirina ssuubi kufuna.

Nsaba Katonda amponye n'abaana bange ndabe baze bwanaatutunulako. Nsaba abazirakisa bannyambe okunsondera ku nsimbi mpone ndabirire baana baze be yandekedde.

Obuyambi musobola okubuyisa ku ssimu zino, 0754786296 nga ya taata, Stephen Ssempeewo ne 0779513650 nga ya maama, Gloria Lovisa Kasemeire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...