
Nnina omulenzi naye namugamba annindeko mmalirize okusoma era n'akikkirizza. Mwana wange ku myaka 15 wali okyali muto era obukyala bubeera bufunda.
Y'ensonga lwaki wawulira obulumi. Okwegatta ng'okyali muto kiyinza okuvaako okufuna olubuto nga tonneetuuka n'okunuubuka amangu era ssinga weegatta n'omuntu alina siriimu oba endwadde z'obukaba, kiba kyangu okuzifuna.
Ekirala obukyala busobola okugaziwa ne butaddamu kubeera ng'obwabulijjo. Kyazuulibwa nti abawala abatandika okwegatta nga bato kiba kyangu okufuna kookolo wa nnabaana. Sooka osome olyoke ogende mu bikolwa ebyo.